Pulezidenti asiimye aba Kalizimatiki

PULEZIDENTI Museveni atenderezza omulimu ogukoleddwa abatandisi b’enzikiriza yaKalizimatiki omuli okubuulira enjiri, okulwanyisa obutamanya n’obwavu.

Katikkiro Nabbanja (owookusatu ku ddyo) n’ababaka mu kusaba.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni atenderezza omulimu ogukoleddwa abatandisi b’enzikiriza ya
Kalizimatiki omuli okubuulira enjiri, okulwanyisa obutamanya n’obwavu. Bino byabadde mu bubaka obwamusomeddwa Katikkiro wa Uganda, Robina Nabbanja
eyamukiikiridde mu kuggalawo olukung’aana lw’enjiri olumaze wiiki nnamba mu kifo kya Yezu Ahurire ku kyalo Karama mu Mbarara City. Museveni yagambye nti kalizimatiki ekoze kinene okulaba ng’abantu tebakoma ku kigambo kya Katonda naye
nga balwanyise n’obwavu.
Yategeezezza nti Fr John Bapstist Bashobora yalengera wala nga Yezu eyabuulira enjiri n’assaako okubajja ne kitaawe Yusuf. Yategeezezza nti kyetaaga abakulembeze b’eddiini okwongera amaanyi mu kusomesa enkulaakulana n’okuyamba abagoberezi okulwanyisa obwavu basobole okweyimirizaawo. Ekitambiro kya mmisa kyakulembeddwa Ssaabasumba Lambert ng’ayambibwako Omusumba eyavudde mu America n’ababaseseredooti abalala.
Ssaabasumba Lambert yasabye abantu omwaka guno okubabeerera ogw’okulwanyisa obwavu nga bakola nnyo basomese abaana kuba kye kyobugagga ekisinga.
Omukulembeze wa Kalizimatic, Rev. Fr. John Baptist Bashobora yategeezezza nti mwennyamivu olw’amaka okusasika nga kuvuddeko omuwendo gw’abaana ku nguudo okweyongera