Paapa asiimye Bawalusimbi e Buwama olw'okujaguza emyaka 50 mu bufumbo

Jan 17, 2025

Omutukuvu Paapa Francis asiimye era n’akulisa Mark Walusimbi ne Mukyalawe Maria Goretti Walusimbi ab’e Mbizzinnya, mu Gombolola y’e Buwama, mu disitulikiti y’e Mpigi olw’okuweza emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu. Abaweerezza Omukisa gwe ogw’Obutume.

NewVision Reporter
@NewVision

Omutukuvu Paapa Francis asiimye era n’akulisa Mark Walusimbi ne Mukyalawe Maria Goretti Walusimbi ab’e Mbizzinnya, mu Gombolola y’e Buwama, mu disitulikiti y’e Mpigi olw’okuweza emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu. Abaweerezza Omukisa gwe ogw’Obutume.

Omukolo gw’abadde mu maka g’abajaguza e Mbizzinnya, ku Lwomukaaga nga January 11, 2025. Gwetabiddwako abanene bangi okwabadde abaserikale ba Paapa; Joseph Yiga ne Dr Saturninus Kasozi Mulindwa, Dr Medard Bitekyerezo, Mukyala Nantuwa, Polofeesa Fred Masagazi Masaazi, n’abalala bangi.

Bawalusimbi nga bajaguza emyaka 50 mu bufumbo

Bawalusimbi nga bajaguza emyaka 50 mu bufumbo

Mark ne Maria Goretti Walusimbi bebazadde ba Bbulaaza Simon Simeon Mpanga, Heedimasta wa St Mary’s College Kisubi (SMACK).

Babbulaaza b’e Kisubi bangi, ngabakulembeddwamu Ssenkulu waabwe Bro Casio Aizire, nabo omukolo guno baagwetabyeko era nebaguweesa nnyo ekitiibwa. Abasista bangi okuva mubibiina by’Obunnaddiini eby’enjawulo nabo omukolo guno baagubaddeko.

Missa ey’okwebaza y’akulembeddwa Fr Hillary Munyaneza asomesa mu St Mbaaga’s Major Seminary Ggaba ng’ali wamu ne Faaza Peter Ssenkayi eyavudde e Masaka.

Faaza Munyaneza y’atuusizza obubaka bwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere, eyasiimye ennyo abajaguza, beyagambye nti batambuzza bulungi obufumbo bwabwe era nebabufula obw’ekyokulabirako.

Ate ye Faaza Ssenkayi abajaguza y’abatenderezza olw’okuba abateefu, abakozi, abantu abatya Katonda era abagunjudde obulungi abana baabwe muby’eddiini Katolika, empisa ez’obuntubulamu, n’amagezi.

Bro Simon Simeon Mpanga ng'ayogera

Bro Simon Simeon Mpanga ng'ayogera

 “Nsaba abafumbo mwenna mutwale eky’okulabirako ekirungi bannaffe ba Walusimbi kyebatulaze. Mubeere bakozi. Mulime emmwanyi. Mulunde ebisolo. Ate nammwe bannange abakyali mubufumbo obw’ensonga mweveemu, mugende mu Klezi mwetereeze. Klezia eyagala abafumbo abakozi, abayingiza ssente mu nsawo zaabwe, abasomesa abaana, abawagira emirimo gyayo,” Faaza Ssenkayi bweyategeezezza.

Abaana nga bakulembeddwamu Bro Simon Simeon Mpanga nabo b’asiimye bazadde baabwe olw’okukuuma ekitiibwa ky’obufumbo, okubalabirira obulungi, n’okwelesa byonna nebabasomesa, nebafuuka abantu ab’omugaso.

Omutukuvu Paapa Francis naye y’asiimye engeri Mark ne Maria Gorretti Walusimbi gyebatambuzzamu obufumbo bwabwe era n’abaweereza Omukisa gwe ogw’Obutume.

Okusooka nga mmisa tennatandika, Faaza Munyaneza y’atukuzza Empuku ya Maama Maria, aba famire gyebaazimbye mumaka gano.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});