Eyawangula mmotoka mu kalulu ka LingLong Tire, Eng. Godfrey Kyeyune kata afe essanyu mmotoka eno bw’emukwasiddwa ku kasaawe ak'ekiwempe aka City Tyres mu Industrial Area mu Kampala.
Ono ye muwanguzi eyasoose mu kalulu kano akazannyibwa bonna abagula emipiira gya LingLong mu masundiro ga City Tyre wonna mu ggwanga nga kaatandika mu July omwaka oguwedde.
Mmotoka eyakwasiddwa Kyeyune y’emu ku z’amasannyalaze ezisinga omulembe era ng’ono y’omu ku kaweefube w’okutaasa obutonde bw'ensi mu kukendeeza omukka oguva mu bidduka.
Ekisumuluzo kya Kyeyune
Mmotoma eno emukwasiddwa omumyuka w’omubaka wa Canada mu Uganda (ate nga munnayuganda) Sarah Rubanga Kaggwa.
Ono asiimye kkampuni ya Mandela Group okulowooza ku bakasitoma baayo kati emyaka egisukka mu 20.
Mandela ne kkampuni ya City Tyre baatandika kugabira bakasitima sabbuuni n’ebirala ate ng abateeka ssente mu by’emizannyo. Baleese kati mmotoka ez’amasannyalaze okukuuma obutoonde.
“Erimu ku mateeka agatali mawandiike mu nsi ligamba nti gaba naawe ofune era kino Mandela akitambulirako,” Rubanga bwe yategeezezza.
Yagasseeko okusiima omuwanguzi Kyeyune n’agamba nti mu bulamu oteekeddwa okunoonya ky’oyagala okusobola okukifuna n’amusiima okwenyigira mu kalulu kano.
Ye Kyeyuye, nga yinginiya ate nga musomesa kata afe essanyu bwe yakwasiddwa mmotona eno n’agamba nti kati akakasizza ebibadde bumugaambibwa nti yawangula.
Kyeyune ng'ali mu mmotoka emukwasiddwa
Akoowodde bonna abalina ebidduka okugula emipiira gya LingLong mu kiseera ky'akalulu okuggulawo emikisa y'okuwangula mmotoka.
“Pulezidenti wa kkampuni ya LingLong, Wang Feng yasooka kunkwasa kisumuluzo wiiki ewedde are kati bankwasizza mmotoka yennyini. Nnina essanyu lingi kubanga guno gwe mulundi gwange ogusoose okuwangula mu kalulu,” bwe yategeezezza.
Baamuyigirizza okuvuga motoka eno ey’ekika kya Wuling Cloud EV emu ku zisinga omulembe mw’ezo ezitambulira ku masannyalaze.
Eriko kkamera nnya, ebisawo eby’omukka ebitaasa ku bakenje bina, n’ebirala bingi era ng’osobola n’okugikyaajiingira awaka.
Kitunzi wa Mandela Group, Herbert Bashasha ategeezezza nti basigazza mmotoka bbiri ez’okugabira abawanguzi mu kalulu kano nga kaggwako mu October