Abeebijambiya batemye kkansala ebiso e Kasangati

ABAZIGU abateeberezebwa okubeera abeebijambiya bayingiridde kkansala KatongoleBudala (NRM) akiikirira omuluka gw’e Kabubbu mu Kasangati Town Council ne bamutema ebijambiya ebikutte omukono nga kati anyiga biwundu.

Katongole ng’ajjanjabibwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAZIGU abateeberezebwa okubeera abeebijambiya bayingiridde kkansala Katongole
Budala (NRM) akiikirira omuluka gw’e Kabubbu mu Kasangati Town Council ne bamutema ebijambiya ebikutte omukono nga kati anyiga biwundu.

Katongole, ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Kabubbu Health Center IV, yategeezezza nti ssaawa zaabadde 9:00 ez’ekiro ekyakeesa Olwokuna abazigu ne basala eddirisa ly’ennyumba ne bayingira nga yabeekangidde ku kitanda nga bakutte ejjambiya era mu kwerwanako ejjambiya yamukutte ku mukono kati apookya na biwundu.

Katongole yagambye nti yeerwanyeeko nga bw’akuba enduulu ne badduka. Abatemu bano tebannategeerekeka kigendererwa kyabwe kuba tewali kintu kyonna kye baatutte. Ku ddirisa omutemu we yayise wasangiddwaawo ennyondo, omusumeeni n’ensuuluulu. Mmeeya wa Kasangati Town Council, Tom Muwonge avumiridde ekikolwa kino n’asaba ekitongole ekikuumaddembe okulwanyisa emize egy’ekko nga gino naddala mu kaseera nga tusemberedde eby’okulonda.