App y’ebyettaka yaakumalawo obuvuyo - Mayanja
Jan 28, 2025
MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Dr. Sam Mayanja alaze ebintu App (soma apu)) y’ebyettaka Gavumenti ya Uganda gye yaleese okutaasa abantu ku bubbi bw’ettaka by'etandise okukola.

NewVision Reporter
@NewVision
MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Dr. Sam Mayanja alaze ebintu App (soma apu)) y’ebyettaka Gavumenti ya Uganda gye yaleese okutaasa abantu ku bubbi bw’ettaka by'etandise okukola.
Muno mulimu okwanguya obuweereza nga okufulumya ebyapa, okumanya ebikwata ku ttaka ng'omuntu tannaligula, okumanya obwannannyini obutuufu ku ttaka, okwewala okuferebwa, n’asuubiza nti eno ssuula mpya ereese enkulaakulana n’abantu okutebenkera ku ttaka lyabwe.
Kino era kyakuyamba ne Bannayuganda ababeera ebweru okufuna bwino ku ttaka lyabwe buli lwe wabaawo alina ky'alikolako, n'alagira sisitiimu kigende mu maaso oba
n'ayimiriza. Yyabyogeredde ku pulogulaamu 'Mugobansonga Special’ ku Bukedde Fa Ma ku Ssande.
Ekibuuzo: Mwatongoza App y'ensonga z’ebyettaka, egenda kuyamba etya?
Minisita Mayanja: Eyo App guyite omukutu oguyingiza byonna ebikwata ku ttaka mu kompyuta.
Okutandika kwayo kwajja nga kuva mu kibuuzo kya Pulezidenti Museveni, Ssaabalwanyi, omusajja omugezi ensi yonna gw’emanyi.
Yabuuza nti ekyapa kino ekiweebwa omuntu ng’aguze ettaka (ky’oyinza okuyita photocopy kuba original eba ku White Page), watya nga likodi zaakyo ziyidde, tuba
tusigazza ki?
Ettaka kye kyobugagga ekikulu ekikolerwako obugagga bwaffe wano. Ebiwandiiko ebyo ebimu biri eyo Ntebe, ebirala wano.
Ebimu bw’ogenda okubibuuza nga bakugamba nti fayiro teri wano, oba tetugiraba n’osasula nga buli lw’obuuza bakugamba tennalabika bakumalira obudde ne ssente
naye nga toyambiddwa.
Pulezidenti kye yava abuuza nti naye ebiwandiiko ebyo bwe biriggya? Kwe kulagira nti enkola z’ebyettaka zituusibwe ku mutendera gw’ebyuma bikalimagezi
(computerised land system).
Banka y’ensi yonna kwe kugiwomamu omutwe. Anti ne balooya abamu baali basituse okukiwakanya nga bagamba nti App egenda kubba ttaka ly’abantu, abalala nti
ate bwe banaabiwaayo ne batabissaako ne bibbibwa wakati awo n’ebirala.
Ekyaddirira ye banka y’ensi yonna okutuwola, Pulezidenti Museveni n’assa omukono ku
bukadde bwa doola ekintu ne kitandika. We twogerera, Land Information System ya Uganda y’esinga mu Africa. Era ensi zonna ziva ewaabwe ne zijja okutwebuuzaako;
omuli Zambia, Algeria, South Africa n’endala nga bagyetegereza engeri gy’ekola n’engeri ennyangu gy’ekolamu ebyapa nga byonna biri ku kompyuta mu ngeri ey’ekikugu ng’erina ‘server’ ez’amaanyi ezigiwaniridde, awatali ayinza kugitaataaganya.
Bw’ogendayo ng’olina ky’oyagala okukola ku kyapa kyo ng’okola bukumpanya, oba oyagala kukola ekyapa ekyokubiri ku kyapa ekyakolebwa edda, sisitiimu eno egaana kuba ettaka erimu terisobola kubaako byapa bisukka mu kimu nga kino kikolebwa mu
ddakiika budakiika ng’omuntu asasudde 10,000/- gwokka.
Luli abantu babadde basaba buwanana okubakeberera ebikwata ku ttaka, awamu nga basaba 500,000/-, n’okusingawo, naye kati awo twavuddewo dda.
Kati kano kali ‘automatic’, olussaamu 10,000/- nga kakukolera ate oli bw’aba nga
‘saaci’ agikoze ku kyapa kyo nga tomanyi, nnannyini kyo sisitiimu eno ejja kukusindikira obubaka obuloopa nti omuntu ono akebedde ku kyapa kyo, bw’aba mubbi
n’omumanya mangu era n’omuyimiriza.
Bwe kiba ng’oyagala kukola kyapa mu lutobazzi, kompyuta ekugambirawo nti luno lutobazzi temugabibwamu kyapa, ng’obuvaako ng’onoonya awalala.
Nga tekikyali ku bantu omuli ne babbulooka ababadde batutawaanya, wabula weebuuza ku kompyuta.
Ekirala tewakyali kusimba nnyiriri kubuuza bikwata ku ttaka lyo, wabula ka App y’oku ssimu y’ekutaasa byonna omuli obubbi n’obufere bwa babbulooka ne balooya abamu. Naye okusinga babbulooka, bafune eby’okukola ebirala. Kino kitegeeza ki eri eggwanga? Kiraga nti Uganda yaakugenda mu maaso n’enkulaakulana etegeerekeka
awatali kubbibwa tutuuke ku nkulaakulana ey’omuzinzi.
Gavumenti era yaakukung’aanya ssente mu makubo amatuufu nga ziva mu bakola saaci,
abakola tulansifa, abassa kaviyeeti ku ttaka n’ebirala okusasula ebbanja eryo eryatuweebwa banka y’ensi yonna tulifunzizza kubanga sisitiimu yaffe ekola bulungi
No Comment