Oluguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri lutandika kukolebwa mu April
Feb 13, 2025
AKULIRA abakozi mu disitulikiti ye Wakiso, Alfred Malinga akukkulumidde nnyo omuwabuzi wa Gavumenti ku bya mateeka olw’okulwisangawo okuteeka omukono kubiwandiiko ekizingamizza emirimu mu disitulikiti.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA abakozi mu disitulikiti ye Wakiso, Alfred Malinga akukkulumidde nnyo omuwabuzi wa Gavumenti ku bya mateeka olw’okulwisangawo okuteeka omukono kubiwandiiko ekizingamizza emirimu mu disitulikiti.
Malinga yagambye nti Wakiso yemu ku disitulikiti ezirina enguudo embi, kyokka buli Gavumenti lwezisongako okuzikola, enteekateeka ezingamizibwa omuwabuzi wa Gavumenti ku by’amateeka.
Yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti ye Wakiso, minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye bweyabadde atongoza okukola oluguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri.

Oluguudo olgenda okkolebwa
Malinga yagambye nti nga disitulikit, babadde basanga ekizibu ky’enguudo okutekebwa mu bajeti kyokka nezitakolebwa, nga kiva ku biwandiiko eby’enjawulo obutatekebwako mikono.
“Tulina oluguudo lwa Kitemu-Kisozi-Budo-Naggalabi oluwezaako 6.5km nga lwalowozebwako okukolebwa kyokka tetunnafuna kuddibwamu kuva wa muwabuzi wa Gavumenti ku bya mateeka. Kino kitutataganyizza nnyo munkola y’emirimu.” Malinga bweyayongeddeko.
Yategezezza nga bwebalina essuubi nti ensonga zabwe zinaakolebwako nti kuba nebayinginiya abebuzibwako bakontulakita abagenda okukola enguudo tebannakakasibwa ate nga tewali luguudo lugenda kukolebwa nga tebalaze bwerunaatambula.
MINISITA ALALISE OKUKWATA ABAAKOLA GADIBE NGALYE;
Ye Minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye yasoose kwanukula Malinga nagamba nti kituufu wabaddewo okulwawo kw’okuteeka emikono ku biwandiiko era ssabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka ali mu kawefube ow’okutereeza enkola y’emirimu gino.
Kyofatogabye yagambye nti kyokka waliwo essuubi nti ebiwandiiko bigenda kutekebwako emikono kuba enguudo nnyingi okuli neza Kampala ezetaaga okutandika okukolebwa.
Yalabudde bakontulakita abawereddwa okukola emirimu okukola emirimu mu butuufu bwagyo kuba anaakola ebitaliiyo agenda kuggulwako emisango ate akomyewo ssente ezaamuwebwa mu ndagaano.
“Bakontulakita ab’ebweru abanaakola emirimu mubukyamu, tugenda kubatikka tubazeeyo ewabwe era tusuubira nti bayinginiya baffe abawano betwaataddeko okulondoola enguudo ezikolebwa bagenda kufaayo nnyo okulaba nga zikolebwa kumutindo.” Kyofatogabye bweyayongeddeko.
Yategezezza nti buli nguudo ezigenda okukolebwa baazetegereza dda okulaba bwebagenda okuzikolamu, omuli n’okuzitonatona ebitaala ssaako okutekawo embeera eyagazisa buli mutambuze okulukozesa.

Okuzimba oluguudo lwe Kakiri
Yagambye nti bulijjo emirimu gibadde gitandika nga tewali ssente, kyokka kumulundi guno ssente ezigenda okukola enguudo mu Kampala n’emiriraano weziri era teri kyakwekwasa kirara okureka okuteeka ku kontulakira eryanyi.
Akulira eby’okulanga pulojekiti za disitulikiti e Wakiso, William Mayanja yagambye nti oluguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri luwezaako 12.1km era nga kampuni ya China International Construction Company (CICCO) yegenda okulukola.
Okusinziira ku Mayanja, oluguudo lugenda kukolebwa obutasukka mwaka gumu n’ekitundu era nga lwaatereddwako ssente obuwumbi 66 eziriko okuyiwa kkolaasi, okutekako amataala, okukola emifulejje, okuzimba emyala n’ebintu ebirara. Yagambye nti oluguudo lugenda kutandika nga April 2025.
Amyuka sentebe wa Wakiso, Bettina Nantege, yategezezza nga bwebalina essanyu olw’okuba olumu kunguudo embi lulowozeddwako. Yagambye nti bagenda kufuba okulaba nga balondoola buli mulimu ogukolebwa.
Nantege yasabye abagenda okukola oluguudo luno okuwa ku baana b’ebitundu gyerugenda okuyita emirimu ate nabo babeere bakozi balungi kuba okukolebwa kw’oluguudo kugenda kukulakulanya ebitundu byabwe.
Related Articles
No Comment