ABASUUBUZI b’omu Kampala 156, bamaze okwewandiisa okuwerekera ku mubaka wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira okugenda okuziika eyali Pulezidenti wa Namibia eyasooka, Sam Nujoma.
Ennamba y’abasuubuzi abeewandiisa okugenda okuwerekerako ku ssentebe w’abasuubuzi bannannyini bizimbe mu Kampala era omubaka wa Namibia mu Uganda, Kirumira okweyongera kiddiridde pulogulamu y’okuziika eyali Pulezidenti wa Namibia eyabatuusa ku bwetwaze Sam Nujoma entongole okufuluma.
Kirumira yategeezezza nti gavumenti ya Namibia yalangiridde nti ku Lwokutaano nga February 28, 2025 omubiri gwa Sam Nujoma gugenda kuleetebwa mu kisaawe kya ‘Independent Stadium’ ku ssaawa 7:00 ez’emisana eggwanga limukungubagire mu butongole nga bagenda kukulemberwamu ekitambiro kya mmisa.
Oluvannyuma bamuziike nga March 01, 2025, mu kibangirizi mwe baziika abaziira ekya “Heroes Acre”. Era abakulembeze b’eggwanga bokka be bagenda okukkirizibwa okuteeka ebimuli ku ssanduuke y’omuziira Sam Nujoma.
Nga bino bigenda mu maaso abakungu n’ababaka b’ensi ez’enjawulo bakyeyuwa ku kitebe kya Namibia mu Uganda okuteeka omukono mu kitabo ky’abakungubazi ekisangibwa ku Lumumba Avenue e Nakasero mu Kampala nga bano beegasse ku minisita w’ensonga ez’ebweru mu Uganda Gen. Jeje Odongo eyaggulawo enteekateeka eno wiiki ewedde.
Kuliko n’omubaka wa Equatorial Guinea mu Uganda, Carmelo Micha Nguema, omubaka wa Russia mu Uganda, Colombia n’abalala.
Carmelo Micha yagambye nti Nujoma yayamba nnyo okulaba nga alung’amya abakulembeze ba Afrika okukomya entalo nga bagujugubanira obuyinza ssaako n’okunnyikiza enfuga ya demokulasiya.
Sam Nujoma yafudde nga February 9, 2025, mu kibuga kya Namibia ekikulu Windhoek ku myaka 95.