Hadijah Namyalo asiimye Omulangira Nakibinge olw'okwagazisa abavubka Obusiraamu
Feb 24, 2025
AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo atenderezza Jjajja w’obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge olw'okwagazisa bamusaayi muto eddiini yaabwe n’okugiweesa ekitiibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo atenderezza Jjajja w’obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge olw'okwagazisa bamusaayi muto eddiini yaabwe n’okugiweesa ekitiibwa.
“Omulangira Nakibinge ffe ng’Abasiraamu era abakkiririza mu ddiini y’obusiraamu buli lwetukulabako tulabira ddaala ekitangaala ky’eddiini yaffe ey’obusiraamu kubanga okoze nnyo okwagazisa abaana baffe abato eddiini eno, okugimanya ssaako n’okugiwa ekitiibwa era tusaba Allah akutuwangalize” Namyalo bweyategezezza.
Bino Namyalo yabyogeredde ku mukolo gw’e mpaka z’abamusaayi muto abawala n’abalenzi eza kamalirizo nga batuuka mu kusoma ekitabbo ekituvvu “Quran” ogwabadde ku Serena Hotel mu Kampala ku Ssande.
Namyalo yasabye abasiraamu bonna mu bifo gye bakola naddala mu bitongole bya gavumenti n’e byo bwa nnannyini okwongera okwolesa ekifaananyi ekituufu eky’eddiini y’obusiraamu nti ya ddembe era erafubaana kukolaganira wamu n’abantu bonna wadde si basiraamu.
“Abo ababadde balowooza nti gavumenti yaffe teyagala basiraamu, ekyo kikyamu era nasaba abasiraamu bonna ababeera baweereddwa ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu bitongole bya gavumenti okwongera okwagazisa bannayuganda obulungi bw’e ddiini eno eri buli muntu” Namyalo bweyategezezza.
Ye Omulangira Kassim Nakibinge eyabadde omugenyi omukulu yeebazizza Allah okubasobozesa okubasisinkanya ku mpaka za Quran ezisooka mu Uganda okubeera mu kifo eky’e bbeeyi nga Serena kubanga bulijjo abazitegeka tebaziteeka mu bifo nga bino.
Yawadde bamusaayi muto abeetabye mu mpaka zino amagezi okukula nga banywereera ku kigambo kyabwe kubanga omuntu anywereera ku kigambo kye kimufula ow’enjawulo ku balala.
No Comment