NGA tukyagenda mu maaso n’emboozi z’obulamu bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, olwaleero tubadde tukuleetera amakulu amakusike agali emabega w’amannya agaatuumibwa Kabaka, kyokka ka tusooke tukuzzeeyo ema ega tutunuulire ebikwata ku
bakyala ababiri abooluganda okuli Nnaabagereka wa Muteesa, Damalie Nakawombe Kisosonkole, n’Omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole eyazaala Kabaka Mutebi.
Ababiri bano baaluganda, nga bawala ba Christopher Kisosonkole ne Victoria Kisosonkole. Bulijjo emboozi etambula egamba nti, Damalie Nakawombe ye yali mukulu wa Sarah Nalule, era Muteesa bwe yatuuka okuwasa, wadde yali ayagala Sarah Nalule, naye baamuwaliriza okuwasa Damalie kubanga mu biseera ebyo, ng’omuwala omukulu y’asooka omuto okuva ku luggya.
Wabula okunoonyereza Bukedde kw’akoze, n’okuwabulwa okuva mu bamanyi obulungi ensonga zino, tuzudde nga Sarah Nalule ye yali mukulu wa Damalie Nakawombe, era Muteesa gwe yasooka okwagala. Kyokka abamu bagamba nti, wakati awo baafuna obutakkaanya ng’abaagalana, era Muteesa n’asalaw okuganza mutoowe Damalie
nga yeesasuza olw’ebyo ebyali bibatabudde. Kyokka ate abalala bagamba nti, waaliwo ensonga enkulu ez’ekyama abakulu ze baatunulamu be basalawo awase omuto.
Kyokka nga bwe bagamba nti, omukwano teguzibirwa kkubo, Muteesa yasigala ateetera ne Nalule mpola mpola, era n’afuuka Omuzaana we, eyazaala Omulangira Mutebi kati
Kabaka wa Buganda.
ENGERI MUTEESA GYE YASISINKANA ABOOLUGANDA BANO
Mu kitabo kye ‘The Desecration of My Kingdom’, Ssekabaka Muteesa agamba nti, abawala bano yasooka kubasanga Buddo gye yali asoma nabo, kyokka omutima gwe
tegwasooka kubeegomba, wadde nga yabeeranga kumpi nabo.
Anyumya nti, olunaku lumu, yali avuga akagaali n’alengera abawala ano bombi n’asalawo okukacanga nga bwateekamu obukodyo, abalage nti, wa kitalo nnyo asobole okuyoola obuyinja. Wabula akagaali keecanga ne kamuva mu mitambo, yogaayoga nga kamulindiggudde ennume y’ekigwo, ekyaleetera abawala okwekanga n’okwesisiwala.
Naye ng’omuntu omukalukalu bw’aba, yasituka ne yeekubako enfuufu n’akagaali n’akayoolawo, n’alaga abawala nti, takoseddwa era talumiddwa. Ayongera okunnyonnyola nti, bwe baava e Buddo ne bagenda e Makerere, eyo gye yatandikira omukwano ne Sarah Nalule, n’amuyingira ku mutima. Kyokka
aba tannaba kumalako, Muteesa ne bamuggya e Makerere ne bamutwala e Cambridge mu Bungereza gy’aba asomera.
ATABUKA NE NALULE
Muteesa agamba nti, aba al Bungereza, Sarah Nalule n’agenda okumulaba olw’omukwano gwe baalina, era Muteesa agamba nti, Nalule eky’amazima yali yawamba omutima gwe. Baba bali eyo, mu biseera eby’obunnyogovu, ne bafuna obutakkaanya era Muteesa mu kwagala okumulaga nti, usajja ddala, n’asalawo okuganza mutoowe Damalie mu lwatu, era ne baagalanira ddala, n’afuuka Nnaabagereka we.
Era bwe yamaliriza emisomo, n’akomawo mu Uganda nga October 8,1948, yayanjulira
olukiiko lwa Buganda nti, yafunye omwagalwa era agenda kugattibwa mu bufumbo obutukuvu. Nga November 19, 1948, Muteesa yagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne Damalie Kisosonkole ku Lutikko e Namirembe. Omulabirizi Simon Cyril Edgar Stuart, ye yabagatta.
Wabula kino tekyasanyusa Sarah Nalule, wadde nga ku mukolo yaliko ng’emperekeze enkulu ku ludda lwa muto we omugole, omutima gwali gumwennyise ng’ennyiike alina nnyingi ku mutima. Muteesa kino ayongera okukinogaanya mu kitabo kye nti,
Nalule teyali musanyufu wadde akatono era waliwo ekifaananyi ekyakubwa nga banne basanyufu kyokka ye ng’omutwe agutunuzza wansi. Bwe baabayita okubugiriza abagole nga bateeka omukono ku satifi keeti y’obufumbo, Nalule kyamuyitirirako n’agaana okugendayo