Amawulire

NRMSipiika Mbaziira ayagala kusuuza Aloysius Mukasa kifo kya Lubaga South

SIPIIKA w’eggombolola y’e Lubaga Musa Mbaziira, alangiridde nti azze amazeeko okusiguukulula omubaka wa Lubaga South, Aloysius Mukasa

Mbaziira (mu ssuuti) ng’atongoza manifesto ye. Anderson Burora eyali RDC w’e Lubaga (ku kkono). Emabega ye muwabuzi wa pulezienti ku nsonga za Kampala, Sarah Kanyike.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SIPIIKA w’eggombolola y’e Lubaga Musa Mbaziira, alangiridde nti azze amazeeko okusiguukulula omubaka wa Lubaga South, Aloysius Mukasa. Mbaziira abawagizi be gwe bayita ‘bulldozer’, ekitegeeza ekimotoka ekisiguukulula enkonge n’amayinja yatongozza enteekateeka y’ebyo by’ayagala okukola mu Lubaga ng’omubaka wa Palamenti, ku mukolo ogwabadde ku ssomero lya Kabowa C/U mu Lubaga.
Mu 2021, Mbaziira yeewuunyisa abantu, bwe yawangula obwasipiika mu kanso eyali ejjuddemu aba NUP ate nga ye wa NRM. Ebimu Mbaziira bye yeesigamyeko okutandika okusaggula akalulu, kye kitongole kye eky’obwanakyewa ekya Grameen ekiweerera abaana bakateeyamba nga kivujjirirwa ofiisi ya minisita a Janet Museveni. Era kiyamba abantu okwetandikirawo emirimu, era Mbaziira agamba nti olaba ebyo abikoze akyali kkansala, kati ate bw’anaafuna obubaka bwa Palamenti n’agaziya akatiba ka Lubaga South.
Minisita omubeezi mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda avunaanyizibwa ku nsonga z’akanyigo k’e Luweero, Alice Kaboyo eyabadde omugenyi omukulu, yasabye Bannalubaga okwesiga Mbaziira bamuwe akalulu kuba mukozi