OMULABIRIZI w’e Namirembe Bp Moses Banja asiimye omubaka wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira ne bagagga banne okumanya amaanyi ga Katonda ne basobolanga okumuddiza ku bugagga bwe yabawa nga bamuzimbira amasinzizo.
Bp. Banja bino yabyogeredde ku mukolo gw’okusiima emirmu gya Pulezidenti wa Namibia eyasooka, Dr. Sam Nujoma eyatuusa Namibia ku bwetwaze mu March 1990 n’afugako emyaka 15, n’awaayo entebe.
Kevan Higgins Naye Yagenze Okukubagiza.
“Omugenzi Nujoma alina ebyafaayo bya maanyi ku lukalu lwa Africa wadde okusooka yakwata ku ssemateeka ne yeeyongezaayo ekisanja ekyokusatu wabula bwe kyaggwako n’awaayo yekka entebe mu mirembe ekintu ekigenda okusigala nga kimwogerwko mu nsi yonna,” Bp Banja bwe yategeezezza.
Okusaba kuno okwategekeddwa ku kitebbe kya Namibia ekisangibwa ku Lumumba Avenue mu Kampala kwetabiddwako abagagga ba Kwagalana okuli Dr. John Bagambe, Joseph Yiga owa Steel And Tube, Dr. Sarah Nkonge, Dr. Ephraim Ntaganda, looya Francis Nshekanabo, William Kajoba, Joseph Bbosa, Agnes Babirye, Topisita Nabbaale, Hamis Kiggundu (Ham), Meddie Ssebaggala, Peter Ssegawa owa Protea e Ntebe n’abalala.
Omubaka wa Namibia mu Uganda, Godfrey Kirumira yagambye nti bategese okusaba kuno okw’enjawulo mu Uganda ne bannansi ba Namibia abali wano mu Uganda gattako ne Bannayuganda mikwano gya Namibia basobole okuwerekera ku Nujoma mu kitiibwa.
Mu ngeri y’emu n’omukwanaganya w’ekitongole kya UN mu Uganda, Leonard Zulu yagenze ku kitebe kya Namibia mu Uganda n’atendereza omutindo gwa demokulasiya gwe yayolesa mu bukulembeze bwe n’asobola okuwaayo okubukulembeze mu mirembe.
Ono yeegattiddwako n’omukungu okuva ku kitebe kya America mu Uganda, Kevan Higgins, n’agamba nti emyaka 15, Nujoma gye yamala mu buyinza gyakola kinene okutereeza ebyenfuna, eby’obulamu n’ebyenjigiriza mu Namibia era n’abasaba okukuuma omukululo gwe.
Nujoma yafa nga February 9, 2025, mu kibuga kya Namibia ekikulu Windhoek nga waakuziikibwa mu kibangirizi ky’abazira ekiyitibwa “Heroes Acre”