Eyasoma n’Omulangira Mutebi e Bugangaizi anyumya bwe yanyumirwa obulamu

Mar 03, 2025

EYASOMA n’Omulangira Ronald Muwenda Mutebi II ng’atandika okusoma e Bugangaizi, akyalojja effuta ly’okumuvuganga ku ggaali n’omulangira nga bagenda ku ssomero.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

EYASOMA n’Omulangira Ronald Muwenda Mutebi II ng’atandika okusoma e Bugangaizi, akyalojja effuta ly’okumuvuganga ku ggaali n’omulangira nga bagenda ku ssomero.
Mary Namagembe Ntumwa, 80, omutuuze w’e Namungoona mu Zooni y’e Kasubi, agamba nti, yasoma ne Ssaabasajja mu 1960 nga Kabaka atandika okusoma e Kabuubwa P/S mu Ssaza eryali erya Beene ery’e Bugangaizi, anyumya nti:
Beene ng’atandika okusoma, ebiseera ebyo nze nnali mu kibiina kya  waggulu ko kuba mmusinga emyaka 10, nzijukira nze nnali mu kyakutaano nga ye lw’atandika okusoma.
Omulangira Mutebi yaleetebwa mu kyalo Kyabanywagi gye nnali mbeera, mu ggombolola y’e Nkooko e Kkumiro mu Ssaza ebiseera ebyo  eryayitibwanga Bugangaizi (Obote yaliggyawo n’aligabira Abanyoro). Yaleetebwa ew’omwami wa Kabaka Minsuseera Kaweesa, eyo mu 1960 okubeerako mu kyalo akule n’abaana abalala. Ebiseera ebyo yali muto ng’alina emyaka nga etaano.
Minsuseera yali mukwano nnyo gwa kitange omugenzi Yusuf Nyanzi  nga tuli ba muliraano, taata yalina edduuka eritunda ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo, era omulangira olwajja ku kitundu, nga buli  ekikola ewa Minsuseera kigulibwa
ku dduuka lya taata naddala sukaali ataggwangayo olw’Omulangira okubeerayo.
Wadde kitange yali mukwano nnyo gwa Minsuseera, naye ate Omulangira  tetwazannyanga naye wadde gye yali abeera, baamukuumiranga nnyo waka, ate ku wiikendi nga baamutwala ew’omwami ow’eggombolola y’e Kakumiro, baamuggyangayo ku Mmande kugenda ku ssomero.
Eno gye yatandikira okusoma mu 1960 ku ssomero lya KabuubwaP/S e Bugangazi, yali mu myaka 5 egy’obukulu n’atandika P.1.
Kojjange omugenzi Lubega ye yamuvuganga ku ggaali okuva ewa  Minsuseera okumutuusa ku ssomero, nga nange bw’ansanga mu kkubo ng’anteeka ku ggaali n’atuvuga ffembi okugenda okusoma. 

Kino nakyagala nnyo, era nga ntera okwekunya okuva awaka batere  bansangirize mu kkubo nange bantwaleko, ntuule n’Omulangira ku ggaali, kuba ye baamulwisanga
awaka, ndowooza nga bakyamutegeka.
Ekyammalamu amaanyi, nga buli lwe mbalinda ne tugenda ffenna, olutuuka ku ssomero nga nze bankuba kibooko mpitirivu ez’okutuuka ekikeerezi, nga ye ayitawo buyisi awatali kumunenya,  bwe nakoowa kibooko, eby’okwagala okusowola n’omulangira ku ggaali ne mbyesonyiwa, ne ntandika okukeeranga okugenda ku ssomero.
Okuggyako okumuvuganga ku ggaali n’aleetebwa ku ssomero, tewaaliwo kya njawulo kyaliwo kiraga nti, wa kitalo nnyo ku balala, nga kojjange Lubega amuleeta ku  makya n’amutuusa ku ssomero  n’amukima akawungeezi, nga  kirabika abasomesa ku ssomero
be baamuteekangako obukuumi mu kimpoowooze ng’abalala  tebamanyi.
Okuva awaka we yabeeranga, waaliwo akatemerero ka mayiro emu okutuuka ku ssomero naye ng’amakubo malungi geetadde,  naye ng’abasigadde batambuza
bigere okugenda ku ssomero kabeere muto, okuggyako ye eyali ow’enjawulomu nga bamuvugira ku ggaali.
Abaana ku ssomero batono abaakitegeera nti, gwe basoma naye Mulangira ate nga teri abyasanguza, naffe twabiwulirira ku bazadde baffe ate ne batukomako obutabyenjeeza era nga naffe tetusobola kumala googera.
YATAMBUZANGA BIGERE OKUSOMA
Ebiseera ebyo tetwayambalanga ngatto nga tusomera mu bigere, naye Omulangira Mutebi, yasooka kusomera mu ngatto, twalinga  twambala yunifoomu; abawala
ekiteeteeyi kya kiragala ate abalenzi  nga bambala essaati njeru n’empale ya kaki ennyimpi.
Ggwe wamma nga bw’ateekamu engatto anyuma naakamala, ekyaleeteranga
 aana bonna okusamaalirira okulaba engatto. Olumu kitaawe Ssekabaka Muteesa II
yajja mu kyalo, olwalaba ng’abaana abalala bonna tebambala ngatto, naye n’azimugaana, n’atandika  okusomera mu bigere nga ffe, era nga bw’omusanga ne banne
tomwawula, lwakuba ye baamulabiriranga nnyo, ng’abeera muyonjo kwawukanako ku balala.
Kye nzijukira e Kabuubwa, yasomerayo kibiina kisooka n’ekyokubiri (1960-19962) ne
bamuggyayo, naye saamanya ate gye yadda.
Yali mulenzi wa ddembe, nga musirise nga kizibu okumuggyamu ekigambo, saasomako naye mu kibiina kimu kuba nze nnali wagguluko. Bwe yava e Bugangaizi we nakoma okumutegeera, awo nga mmuwulira ku mawulire.
NZIRAMU OKUMUSISINKANA
Naddamu okumusisinkana mu  2017, ebiseera ebyo nnali nkolera mu katale ka Owino nga nze nkulira ekiyumba kya Ntumwa House ekitunda empapula n’amawulire
amakadde, Ssaabasajja n’ajja okutukyalirako mu 2017.
Nnina be naanyumizaako nti, nasomako ne Kabaka e Bugangaizi, era Omutanda olwatuuka, eyali ayogerera omukolo n’amutegeeza nga mu bantu be abakolera mu owino mulimu eyasoma naye, Omutanda n’antumya.  Essanyu kata linzite, natuuka waali ne nfukamira mu maaso ge, akaseera ako namujjukiza byonna ebyali mu kyalo, essomero,
engeri gye twagenderanga ffembi ku kagaali n’ebintu kitange bye yabaguzanga ku dduuka lyaffe,n’abijjukira bulungi naye kata enseko zimutte, kaali kaseera ka masanyu.
Twateesa okugenda e Mengo tumutwalire Amakula ng’aba Owino nziremu okumubuuzaako, naye eyali omukulembeze waffe Kayongo olwamugoba, naffe be yali akola nabo ne batugoberako entegeka zonna ne zifa, naye nneesunga okuddamu  omusisinkana.
Bwe nnava e Kabuubwa P/S nneegatta ku Kikoma SS gye natuulira siniya eyookuna ne ηηenda ku YMCA ne nsoma obwa ‘Secretary’, lwamala ne nfuna omulimu ku UBC gye nakoleranga ne baze Ntumwa era navaayo mu 1979.
Mu 1980 ne nnyingira Owino  nga ntunda empapula enkadde, ne nfuna obukulembeze okukulira ennyumba ya Ntumnwa Hous etunda empapula.
Beene mmuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 70. Nsaba Mukama ampeeyo akadde akalala mmusisinkane. Muzeeyi John Mary Ntumwa,85, bba wa Namagembe agamba nti, ye yasisinkanako Ssekabaka Muteesa II mu 1961, bwe yali
asoma ku Namilyango College mu siniya eyookutaano, yabakyalira ku ssomero ne bamukwatako mu ngalo. Ate ku lw’Amenunula mu 1962 abayizi ba Namilyango College baaleetebwa e Kololo ekiro nga Muteesa akwasibwa obuyinza bw’eggwanga ne bamukwasa  bendera ya Ugnada ne bakuba enduulu okwekutula, bendera ya  ungereza ne bagissa wansi, eya Uganda n’ewanikibwa waggulu, awo Muteesa II n’abeera pulezidenti w’eggwanga lino omubereberye.  Ntumwa agamba nti, Ssaabasajja Mutebi   . tamusisinkanangako mu buntu, naye ayagala nnyo Obwakabaka okuva ku kitaawe
Muteesa. Amuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge ag’e 70, n’asaba Mukama amuwangaaze

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});