Alabudde ku basembebwa okuweereza Kabaka
Mar 03, 2025
OMWAMI wa Kabaka atwala essaza lya Kyaddondo Kaggo Ahmed Magandazi Matovu Ssaalongo asabye abaweereza b’obwakabaka okusemba abantu ab’ensonga abanaasobola okuweereza obulungi obwakabaka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
OMWAMI wa Kabaka atwala essaza lya Kyaddondo Kaggo Ahmed Magandazi Matovu Ssaalongo asabye abaweereza b’obwakabaka okusemba abantu ab’ensonga abanaasobola okuweereza obulungi obwakabaka.
Buno bubadde bubaka Kaggo bwatisse omwami wa Kabaka ow’e Ggombolola ya Mumyuka Nakawa Ssaalongo James Ssekitooleko bw’abade aggalawo omusomo gw’abakulembeze mu Ggombolola ya Ssaabaddu Kira ku Mbuga yaayo esangibwa e Kira.
Kaggo Magandazi agambye nti waliwo abaami abaweebwa obukulembeze nga sibetegefu kuweereza bwatyo n’asaba abantu okusemba abantu abanaasobola okuwereza.
Abaweereza ba Kabaka mu Ggombolola ya Mumyuka Nakawa nga bakulembeddwa omwami wa Kabaka ow’eggombolola eno Ssaalongo James Ssekitoleko nabo baasomeseddwa ku ngeri gye bayinza okuweerezaamu obwakabaka.
Omusomo guno gwabade ku kkanisa ya St Yusuf Lugalama Bbuye- Kigoowa era nga gwakulembeddwa omulezi w’essaza ly’e Kyaddondo Shaban Jjingo wamu n’omulezi wessaza ly’e Buddu ne Mawokota, Alex Nakanjako nga bano baasomesezza abaweereza ba Kabaka obuvunaanyizibwa bwabwe ku buli mutendera kwe bali.
Baasomeseddwa engeri gye bayinza okukolamu fayiro z’ebitongole byabwe, engeri gye balina okutuuzaamu enkiiko mu bitongole mwe bali n’ebirala
No Comment