Amagye ga Russia 50,000 gadduse mu ddwaaniro

Mar 10, 2025

Amagye ga Russia emitwalo 50,000 gaakadduka mu ddwaaniro emyaka esatu okuva eggwanga eryo bwe lyalumba Ukraine.

NewVision Reporter
@NewVision

Amagye ga Russia emitwalo 50,000 gaakadduka mu ddwaaniro emyaka esatu okuva eggwanga eryo bwe lyalumba Ukraine.

Okusinziira ku lipooti eyakoleddwa akabinja ka bannansi ba Ukraine abanoonyereza aka Frontelligence Insight, ebyama bino baabisomodde ku biwandiiko bya Russia. 

Mu bye baazudde ebirala mwe muli omuwendo gw’abajaasi Russia be yaakafiirwa mu lutalo abawera emitwalo 56. 

Amagye Nga Geetegula Eddwaaniro.

Amagye Nga Geetegula Eddwaaniro.

Russia eyakola ennumba
Wadde guli gutyo, Russia ekyakola ennumba ez’okumu kumu mu Ukraine era ng’ezaakasembyeyo yasse abantu abasukka mu 100.

Ennumba zino yazikoze waakayita mbale nga Pulezidenti wa America, Donald Trump alangiridde nga bw’asaze Ukraine ku mpuliziganya ey’ekikessi eya Setlite ebadde eyamba Ukraine okulengera ebiri mu Russia, okwetegekera ennumba ezigikolwako.

America okusalako empuliziganya kiddiridde okuwaanyisiganya ebigambo okwaliwo wiikendi ewedde, Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelenskyy bw’atakkaanya na Trump n’omumyuka we JD Vance.

Kino kyaddirira Trump ne Vance okwagala okufunza Zelenskyy nga baagala agondere buli kye bamulagira olwo bamuwe obuyambi okulwanyisa Russia oba si kyo bo boogere ne Russia bakomye olutalo nga Ukraine tebyetabyemu.

 

Zelenskyy yawakanya Trump era n’afuluma White House, olwo Trump n’asigala si musanyufu kwe kusalawo okutandika okulaga amaanyi ga America mu lutalo luno naddala eri Ukraine. 

Ku Lwokutaano, omubaka wa America ow’ensonga za Ukaine ne Russia, Lt. Gen (Rtd). Keith Kellogg, yategeezezza bannamawulire ba CBS News nti ebitandise okutuuka ku Ukraine bivudde ku Pulezidenti Zelenskyy okuyisa olugaayu mu America ng’ate akimanyi nti y’eyimirizzaawo olutalo.

Kellogg yagambye nti ekiragiro kya America obutaddamu kuwa Ukraine bifaananyi bya bukessi kyavudde butereevu ewa mukama we Trump okumala ekiseera ekitali kigere kyokka n’atalaga ddi kino lwe kinaakoma.

Kino kitegeeza nti amagye ga Ukraine wadde gakyalina emmundu, ttanka n’ennyonyi, America n’amawanga ga Bulaaya bye byagiwa, kati kizibu okukuba munda mu Russia kuba tebalinaayo bukessi ate kikaluba nnyo n’okuketta Russia omanye ky’ezzaako era kitegeeza nti eby'okulwanyisa Ukraine by’erina tebirina makulu kuba tebikyalina ‘liiso’. 

Okuva ku Lwokutaano, Russia yatandise okukasuka mizayiro mu Ukraine mu bifo ebikosa ennyo ekibuga ekikulu Kiev nga tesiriikiriza.

Ku Lwomukaaga, yakasuse mizayiro ezasse abantu abasoba mu 50 ng’okusinga zaakoleddwa mu bibuga okuli; Kiev ne Donetsk.

Ekitongole kya Ukraine ekidduukirize ku Ssande kyategeezezza nti Russia yayongedde okusindika ennyonyi z’ekika kya Drone mu bibuga nga Pokrovsk, Kostyantynivka, Myrnograd ne Ivanopillya nga byonna bisangibwa mu Kharkiv Region ne zitta abantu abawera.

Amagye ga Ukraine ku Ssande gaategeezezza nti omugatte gwa Drone 145, Russia gwe yasindise okukuba munda mu Ukraine ku Lwomukaagana wadde ezimu baazibase ne zitakosa nnyo bantu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});