Obukodyo 10 abavuganya mu Kawempe bwe baleese

Mar 10, 2025

EBBUGUMU lyeyongedde mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’Omubaka wa Kawempe North mu Palamenti, era buli nkambi eggyeeyo obukodyo okumatiza abalonzi babawe akalulu. Obukodyo bwe baleese mulimu;

NewVision Reporter
@NewVision

EBBUGUMU lyeyongedde mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’Omubaka wa Kawempe North mu Palamenti, era buli nkambi eggyeeyo obukodyo okumatiza abalonzi babawe akalulu. Obukodyo bwe baleese mulimu;
OKUKOZESA BANNABYABUFUZI
Aba NUP buli muluka bataddemu omubaka wa Palamenti akulira ttiimu ya bakakuyege, abasiiba nga batalaaga ebyalo nga bakunga abalonzi okulonda Nalukoola akwatidde
ekibiina kino bendera. Omubaka Gorretti Namugga y’akulira omuluka gw’e Mpereerwe, Betty Nambooze (Komamboga), Denis Ssekabira (Kikaaya), Teddy Nambooze (Kawempe II), Medard  Sseggona ne Mathias Walukagga (Kyebando), Fred Ssimbwa wa
Kawempe I, Joseph Ssewungu ali Kanyaya, ate Wakayima Musoke  wa Kazo-Angola. Nambi owa NRM naye yayungudde ebikonge mu NRM, okuli mmeeya wa Kampala Central Salim Uhuru Nsubuga,  Minisita wa Kampala Minsa Kabanda ose Mary Namayanja ne Katikkiro w’eggwanga Robinah Nabbanja.
Oku genda mu MASINZIZO Nago abeesimbyewo bagettanidde. Eggulo, Nalukoola yasabidde ku Klezia ya St. Kizito Parish e Bwaise, ye yavudde n’agenda ku St. Peters e Kanyanya. Yabadde akulembeddwaamum omubaka Joseph Ssewungu. Faridah Nambi eggulo yabaddeko ku muzikiti gw’e Kawempe ku taano awaabadde Darasa ate ku Lwokutaano yasaalidde ku muzikiti ewa Mbogo. Henry Kasacca owa D.P naye yasabidde ku St. Kizito e Bwaise, gye yasinzidde okusaba akalulu.
OKUKOZESA FFAMIRE YA SSEGIRINYA
Enkambi ya NUP, etambula ne bannamwandu bataano nga bakulemberwa Twahira Akandinda.
Enkambi ya Nambi nayo yeekwat  ku nnamwandu wa Ssegirinya Mariam Nakabuye, ne mulekwa Shifrah Nagirinya. Nambi yeeyama okuweerera Nagirinya, era Nakabuye
 gamba nti ono y’ajja okutuukiriza ebirooto bya Ssegirinya. Muhammad Luswa Luwemba eyali omuyambi wa Ssegirinya, naye yeekutte ku mugenzi nga n’ebipande bye biriko ekifaananyi kya Ssegirinya. Moses Nsereko aye ky’akulembeza ng’awenja
akalulu, kwe kuwa ffamire ya Ssegirinya obukadde 50 ku 200 ze banaamuwa ez’emmotoka.
OKWEFAANAANYIRIZA EMBEERA Z’ABALONZI
Nambi owa NRM alabiddwa enfunda ng’akola ng’ayambako abakyala okuwaata, okwera kasasiro, okutambulira mu kimotoka kiweetiiye ekigogola emyala. Hajati Hanifah Karadi, atambulira ku Tuk-Tuk, ng’awenja akalulu, okuggyayo ekifaananyi nti ategeera embeera y’abantu ba bulijjo. Ate Sadat Mukiibi ‘Khalifah Aganaga’, gy’ayitira
 akwata ekitiiyo n’agogola emyala, bw’amala abalonzi ng’abakubamu ku miziki okubacamula.
Muhamood Mutazindwa, ayambako b’abeera asanze okumaliriza emirimu gy’abasanzeeko.
Okugeza b’asanga nga bayoza engoye, naye akutama mu bbaafu n ’aboolezaako.ABAYIMBI abasanyusa Abayimbi ne bannakatemba abalina akakwate ku bibiinabyobufuzi nabo bakozeseddwa mu kalulu kano. Aba NUP bakozesa abayimbi okuli; Big Eye, Geoffrey Lutaaya, Mathias Walukagga, ne Pulezidenti waabwe yagulanyi
Ssentamu, okucamula abalonzi. Aba NRM baaleese Stabua Natooro, Gravity omutujju  e Ronald Mayinja okukuba omuziki.
OKUTAMBULA NJU KU NJU
Bannabyabufuzi basazeewo abalonzi okubasanga mu bitundu byabwe. Abamu nga Moses Nsereko, Muhammad Luwemba, Henry sacca, ne Ismail Mulindwa, batambula
n’emizindaalo okutambuza eddoboozi eri abo be batasobola utuukako butereevu. Abatalina bibiina bo batambula n’obubonero bwabwe, okujjukiza abalonzi
okubalonda ku Lwokuna.
OKUGABA OBUPANDE OBUTONO
Abeesimbyewo baakubisizza obupande obutono, bwe bassa mu nsawo ng’olumala okupoloota omulonzi, akwata mu nsawo n’olowooza agenda kukuwa ssente kumbe akuwa kapande ke.
EBIBINJA BYA BAKAKUYEGE
Buli nkambi erina ebibinja by’abavubuka, abatambula kyalo ku kyalo nga bakola kakuyege. Bano omulimu gwabwe gwa kusaasaanya bubaka bwa muntu waabwe, ku
by’anaakolera abalonzi, okutambuza ebipande, n’okuggyawo enziro gye baba batadde ku muntu waabwe mu bantu. Bano be bafuna mawulire okuva mu bantu, ne bagatwala mu nkambi zaabwe beetereeze mu bintu eby’enjawulo.
OKUKOZESA EBISIKA ABALONZI Aba NUP batambula n’ebimotoka okuli ebidongo ebikunga abantu, kw’ossa eggaali y’abantu abayitirivu, nga we bayise baleka babuguumiridde.
Ye Nambi atambula ne pikipiki ezimukulembera nga zeebonga, ekireetera abalonzi okuvaayo balabe ogubadde.
Ye Moses Nsereko atambulira mu kigaali nga bamusindika, ng’agenda okola katemba,  ra naye asikiriza abantu okusembera awulire kyagamba.
EMIKUTU GY’AMAWULIRE
Abeesimbyewo bakozesa emikutu gy’amawulire; ttivvi, leediyo, empapula z’amawulire ’emikutu emigattabantu. Olwaleero abeesimbyewo bagenda kubeera ku Pulogulaamu  Akabbinkanon eya Bukedde TV 1, ku ssaawa Nalukoola 5:00 ez’ekiro.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});