Abayizi ba PASS PLE Club basiimye olupapula lwa Bukedde

Mar 10, 2025

BUKEDDE ekyaddeko mu masomero agali mu kibiina kya Pass PLE Club omwegattira amasomero ageetaba mu kukola ebibuuzo bya Pass PLE ebifulumira mu lupapula lwa  Bukedde buli lwa Mmande ne ku Lwokuna

NewVision Reporter
@NewVision

BUKEDDE ekyaddeko mu masomero agali mu kibiina kya Pass PLE Club omwegattira amasomero ageetaba mu kukola ebibuuzo bya Pass PLE ebifulumira mu lupapula lwa  Bukedde buli lwa Mmande ne ku Lwokuna.
Yakulembeddwaamu omu ku bavunaanyizibwa ku kutunda amawulire ga  Bukedde, Andrew Kamukama  ne batuuka mu masomero okwabadde,  Grand Getu Junior School e Kyengera Mugongo ne Paradise Junior School e Nsaggu okulaba bwe beeyambisa enteekateeka eno.
Akulira essomero lya Grand Getu junior School, Ceaser Bwogi yatenderezza Pass PLE olw'ebyo ebissibwamu  bye yagambye nti bibayamba okwekebera we ayimiridde n’akunga amasomero omwettanira olupapula lwa Bukedde. Abayizi nabo  baalaze essuubi nti ebibuuzo baakubiyitira waggulu nga beeyambisa Pass PLE.
Amyuka akulira essomero lya Paradise Junior School, Ronnie Kakoolwa yagambye nti omwaka oguwedde baafuna abayizi bangi abaayitira mu ddaala erisooka nga obuwanguzi buno baabwesigamya ku katabo ka Pass PLE.

Abayizi bannyonnyodde nti essuubi lye balina mu kukozesa Pass PLE ddene nga basinziira ku bannaabwe engeri gye azze bakolamu ne basiima abazadde n’abasomesa  babagulira olupapula luno. Omukung’aanya w’Olupapula lwa Bukedde, Micheal Mukasa Ssebbowa yannyonnyodde nti ebibuuzo ebiteekebwa mu katabo kano, bitegekebwa abasomesa abakugu nga bagoberera omutendera gw’ekibiina ekiteekateeka
ebisomesebwa mu ggwanga. Yagasseeko nti, enkola eno omuyizi ayiga okukolagana
 e banne kuba ne mu nsi gy’alagamu yeetaaga okukolagana n’abantu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});