Enkola ennyangu mw'osobola okuyita okussa amazzi ku ffaamu
Mar 10, 2025
AMAZZI kimu ku bintu eby’enkizo ebitalina kubula ku ddundiro oba ssamba singa obeera ng’okola bizinensi mw’oggya ssente.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
AMAZZI kimu ku bintu eby’enkizo ebitalina kubula ku ddundiro oba ssamba singa obeera ng’okola bizinensi mw’oggya ssente.
Dr. Jolly Kabirizi, omukugu mu ndiisa y’ensolo, agamba nti, amazzi gakola ebitundu nga 70 ku 100 eby’emibiri gy’ebirundibwa nga kino kitegeeza nti, singa tebifuna mazzi gabimala, tebigenda kukuwa ky’obyagalamu.
“Okugeza ente esobola okusala okutuuka ku bitundu 50 ku 100 eby’amata singa tefuna mazzi gagimala bulungi. Enkoko nazo zisobola okusala amagi n’amalala tezigabiika nga tegajjudde ate ez’ennyama ne zitakula bulungi kuba buli lwe zitabeera namazzi, tezisobola kulya mmere kuzisobozesa kukula,” bw’agamba.
Okugeza, ente y’amata yeetaaga waakiri liita z’amazzi 100 olunaku nga bino by’ebidomola 5 okusobola okukuwa amata ate nayo esigale nga nnamu bulungi.
Ssaalongo Washington Mugerwa, omukugu mu kulima ebitooke, agamba nti, mu kiseera ky’omusana ekitooke kyetaaga okufukirira liita z’amazzi 100 buli lunaku. Kyokka olw’ebbula ly’amazzi waakiri kiwe liita 40 buli wiiki ogatteko okukibikka.
Agamba nti, ebitooke obutafuna mazzi kivaako okussa amatooke amatono mu bunene bw’enkota, eminwe ate n’okusiriira enkolokolo ekivaako olusuku okukutuka nga zino z’ensuku z’osisinkana nga kibuyaga azimazeewo.
Nga Uganda essa amaanyi mu kutumbula okulima emmwaanyi, Edward Lutaakome, omukugu mu kulima emmwaanyi agamba nti, omuti gw’emmwaanyi gwetaaga okufukirirwa waakiri liita z’amazzi mukaaga olunaku. Gano gafukirire kawungeezi kuba mu budde bw’emisana akasana kaganywa ne gaggwa mu ttaka.
Singa emmwaanyi tefuna mazzi, kigiviirako okulerya n’ekola emiwula emiddugavu egitalina katale nga wadde mu kiseera kino bbeeyi etera okubeera waggulu, weesanga ng’omulimi talina ky’afunye kuba omutindo gw’emmwaanyi z’abeera akungudde gubeera wansi nnyo.
Bashir Mayiga, owa Bwasandeku Mixed farm, omusomesa w’okulima obutunda agamba nti, omuntu yenna ayagala okussa n’okufuna ssente mu kulima obutunda, alina okukaawalikasa nti, alina amazzi nga mu kiseera ky’omusana ekikolo ky’akatunda wandikifukiridde waakiri ne liita ttaano olunaku.
Emirandira gy’akatunda giriira ku ngulu ng’obutafuna mazzi kigiviirako okusiriira olwo n’akatunda konna ne kamaliriza nga kasiridde era emirundi mingi osisinkana omusiri gwonna nga gukaze. Ate ne bwe gubeera tegukaze, ebimuli bikunkumuka n’okussaako obutunda obutaliimu nsigo.
OKUFUNA AMAZZI KU FFAAMU
Waliwo enkola ez’enjawulo omulunzi n’omulimi z’asobola okuyitamu okufuna amazzi g’osobola okukozesa ku ffaamu n’osobola okusigala ng’oli mu bizinensi omwaka gwonna.
AMAZZI KU BIYUMBA
Dr. William Kabanda, akola ne kkampuni ya URUS era omukugu mu kuteekateeka ffaamu z’okulunda agamba nti, omulunzi yenna yandibadde atandika n’amazzi agava ku biyumba bya ffaamu ye ng’agalembeka n’agassa mu ttanka okugakozesa mu mirimu egy’enjawulo ku ffaamu“Bingi ebyetaagisa amazzi okutandikira ku kuyonja ffaamu ng’okwoza ebiyumba, ebiriirwamu n’ebirala by’osobola okukozesa amazzi gano. Kyokka wadde oyinza okubeera n’okwekengera okubeeramu obuwuka, amazzi gano singa ogassaamu eddagala eritta obuwuka, gasobola okukozesebwa okunyweesa ensolo zo,” Kabanda bw’agamba.
Agamba nti, ng’omulunzi abukola nga bizinensi, buli nnusu gy’osobola okutereka obutasaasaanya, ago gabeera magoba go. Noolwekyo olw’okuba amazzi kimu ku bintu ebisinga okwetaagisa ku ffaamu, engeri yonna gy’osobola okugafunamu gikozese.
OKULEMBEKA MUKOKA
Phillip Kalera,46, dayirekita wa Gomba Next Generation Model Farm, ku kyalo Kigezi mu ggombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba, agamba nti, ekitundu kya Gomba kisangibwa mu lukoola ng’eno omusana gubatawaanya nnyo ente ne zituuka n’okufa olwo abalunzi ne batuuka okuzitunda 100,000/- waakiri babeeko ke bafuna.
“Olw’okuba wano tewali mazzi, twasalawo okusima ebidiba nga mu kiseera kino tulina ebidiba bisatu omuli amazzi ng’ekimu tulina enteekatateeka z’okulundiramu ebyennyanja”, Kalera bw’agamba.
Amazzi gano gabeera ga mukoka era nga gassibwako enkola egasengejja nga gayita mu gayinja aganene n’omusenyu gw’ennyanja okukakasa nti, we gatuukira mu pampu egakuba okugatuusa mu ttaaka wagguluokukaawali
ebiyumba nga ge gamu naye n’abakozi be ge bakozesa awaka.
Kino tekikyali kizibu ku ffaamu eno kuba afuna amazzi agamala era nga yagatambuza mu payipu okwetooloola ffaamu yonna ne mu biyumba by’ente ky’agamba nti, kyanguya okubyoza n’okuzinywesa kuba ente ezirya omuddo omukalu zeetaaga amazzi agawera.
ENKOLA Y’EKIWOJJOLO
Paasita Freddie Ssekyewa, owa Celebrate Hope Ministries e Ssanje, mu disitulikiti y’e Kyotera, agamba nti, olw’okuba yalina enteekateeka y’okusitula embeera z’abantu mu kitundu okuyita mu kulima, kyali kimwetaagisa okukola okulima nga bizinensi nga balima omwaka gwonna.
Agamba nti, wakati mu kusala entotto baakwtagana n’ekitongole kya Agriculture Business Initiative (aBi) ekyabalaga enkola y’okulembeka amazzi mu nnimiro ebayambye okufuna amazzi g’okufukirira ebirime byabwe.
“Mu nkola eno emanyiddwa nga ey’ekiwojjolo, osima ekidiba ne kizimbibwa era n’okissaamu ekiveera ekiddugavu olwo n’ossaako amabaati nga bw’olaba basereka ennyuma ya ‘Busitoowa’ kyokka gano galina kuyiwa munda mu kidiba,” Pr. Sekyewa bw’agamba.
Mu kiseera kino alina ebidiba ebisoba mu 30 ng’ekimu kya miita 11 ku 11 ate n’okukka miita 11. Kino kisobola okubeeramu liita 60,000 ez’amazzi nga gano gamusobozesa okulabirira ennimiroze n’asigala mu bizinensi ekiseera kyonna kuba ekitundu kya Rakai kitawaanyizibwa ekyeya.
OKUKOZESA AG’EMIGGA, ENTOBAZZI N’ENNYANJA
David Okurut, kaminsona w’ensonga mu minisitule y’amazzi n’obutonde, agamba nti, Uganda efiirwa ebitundu 6.3 ku 10 eby’entobazzi olw’enkulaakulana y’ebibuga, obulimi n’obulunzi, okukozesebwa ennyo, okuyiwamu kazambi n’ebirala.
Akkaatiriza nti, ebifo bino bisobola okukozesebwa okuvaamu amazzi abalimi n’abalunzi ge basobola okukozesa mu kulima n’okulunda ate nabyo ne bisigala nga bikola omulimu gw’obutonde.
Agamba nti, omuntu aliraanye ebifo bino, asobola okubikozesa okufunamu amazzi n’asobola okufukirira n’okunyweesa by’alunda ekimusobozesa okusigala mu bizinensi omwaka gwonna mu kifo ky’okulindanga enkuba.
No Comment