POLIISI eyise Charles Bukenya Muvawala amanyiddwa nga Zonto aggyibweko sitatimenti ku by'okumuwamba.
Muvawala , kigambibwa nti yawambibwa nga March 5, bwe yali ava ku bbaala ya Happy Boys e Nakulabye mu Kampala nti oluvannyuma ne bamusuula e Buliisa nga March 7.
Kigambibwa nti abaamuwamba, beeyambisa mmotoka mwe baamutambuliza nti era nga baasooka kumutulugunya nti ne bamusuula e Buliisa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti, baagezaako okutuukirira ddereeva gwe baali ne Muvawala asobole okubawa sitatimenti nti kyokka ye n'abasindika eri ab’ekibiina kya NUP.
Rusoke agambye nti , baludda nga bayita Bukenya , agenda abannyonnyola byonna ebyaliwo, nti naye tennalabika.