AKABINJA akafuuse ak’omutawaana e Matugga mu divizoni y’e Gombe mu Nansana Munisipaali ke bayita ‘Kasolo Group’, kakoze loodibulooka e Matugga ku Klezia ne banyaga abatuuze ababadde bava okukola okukkakkana nga basse n’omuvubuka.
Ettemu lino lyabaddewo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ekyakeesezza ku Ssande, Godfrey Kabajja,20, bwe yabadde adda awaka n’agwa ku kabinja ka bakasolo group nga basudde emisanvu.
Loodibulooka baagitadde ku Klezia ya St. Francis of Assisi e Matugga nga banyagulula buli ajja. Baababbyeeko essimu ne ssente. Kabajja naye yabaguddemu nga baamuvudde mabega ne bamukuba ppeeva ku mutwe n’agwa wansi ne batandika okumusamba emigere ne bamubba ne babulawo.
Abatuuze baamusanze mu luwonko ng’ataawa ne bamuddusa mu ddwaaliro e Mulago kyokka n’afa nga yaakatuusibwa.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Fred Mubiru, baagambye nti, abavubuka bano kati bafuuse ekizibu ku kitundu ng’ekisinga okwewuunyisa poliisi yabakwatamu gye buvuddeko ne bakkakkana kyokka kati bakomyewo, basaba poliisi ebakwate.
Yagambye nti, abavubuka bano bali wakati w’emyaka 14-20 nga babba mu bitundu okuli; Matugga, Kawanda, Nabweru ne Kawempe nga batambulira mu bibinja.
Abatuuze bagambye nti, kyandiba ng’abavubuuka abasse Kabajja yabadde abamanyi