POLIISI eyodde abagambibwa okutigomya Bannakawempe mw’ekwatidde n’eyatoloka ku kabangali yaayo nga bamutwala mu kkooti ku misango egy’enjawulo.
Ekikwekweto kino kyakoleddwa poliisi y’oku Kaleerwe ng’eduumirwa Asp Rogers Musana oluvannyuma lw’abatuuze kwemulugunya ku bavubuka abateega abantu ne babanyaga.
Poliisi yakwatiddemu ne Joseph Ssali eyatoloka ku kabangali yaayo. Mu balala abaakwatiddwa mulimu abaasangiddwa n'ebiragalalagala ng'abamu baabadde ‘bakubiddwa’ nga tebamanyi bigenda mu maaso.
Afande Musana yagambye nti Ssali yakwatibwa mu December w’omwaka oguwedde
oluvannyuma lw’abantu okumuwaako obujulizi mu kuteega bantu n’abakuba wabula nga bamutwala mu kkooti ya LDC, yabuuka ku kabangali ya poliisi n’adduka. Ssali yagguddwaako n’ogw’okutoloka nga guli ku fayiro nnamba CRB 1063/2024.
Yagambye nti mu baakwatiddwa mulimu abaabadde banoonyezebwa ku misango egitali gimu n’asaba abatuuze obutabikkirira bakyamu era balina okukwatagana ne poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Ssali mu kwewoozaako yagambye nti yali amanyi ke yabuuka ku kabangali, abaserikale baabivaako n’asaba ekisonyiwo. Jane Nakawunde, omu ku Musana (ku ddyo) ng’akutte Ssali. Yakwatiddwa Yakwatiddwa Yakwatiddwa batuuze yagambye nti okuggyako nga Gavumenti etaddewo etteeka ekkakali ku bamenyi b’amateeka, abavubuka kati balina amaanyi agasusse kuba abamu balina ‘abanene’ be bakolagana nabo nga
bwe bakwatibwa amasimu gava waggulu ne galagira bayimbulwe bunnambiro, ekivaako obumenyi bw’amateeka okweyongera