Kkooti egaanyi Mubajje okweyongeza ekisanja
Mar 13, 2025
KKOOTI Enkulu mu Kampala egaanyi Mufti Shaban Mubajje okweyongeza ekisanja, omulamuzi n’agamba nti ssinga akikola waakukisazaamu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
KKOOTI Enkulu mu Kampala egaanyi Mufti Shaban Mubajje okweyongeza ekisanja, omulamuzi n’agamba nti ssinga akikola waakukisazaamu.
Kiddiridde Abasiraamu abawakanya ekya Mubajje okusigala mu ofiisi okuddukira mu kkooti eno nga baagala emulagire aweeyo ofiisi kuba emyaka 70 egimuweebwa ssemateeka w’Obusiraamu yagiwezezza eggulo ku Lwokusatu, ate nga n’emyaka 10 Mufti gy’alina okumala mu ofiisi gyaggwaako dda okuva lwe yalayira mu November wa 2000.
Abasiraamu bana okuli; Swaibu Nsimbe, Twaibu Byansi, Musa Kalokora ne Musa Kasakya nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Sewankambo and Company Advocates, eggulo baawadde aba Uganda Muslim Supreme Council ebbaluwa omuli okwemulugunya kwabwe nga baazitutte ku kitebe kya UMSC e Kampalamukadde.
Oluvannyuma lw’okufuna empapula zino, bannamateeka b’enjuyi zombi baalabiseeko mu Kkooti Enkulu ku Twed Tour mu maaso g’omulamuzi Emmanuel Baguma.
Oludda oluwaabi lwagala kkooti ejungulule byonna ebyasalwawo olukiiko lw’abamanyi olwa Majilis Ulama olwayisa ekiteeso ky’okwongeza Mubajje ekisanja nga bagamba nti lulina kukola ntegeka za kulonda mufti omuggya nga bwe kirambikibwa ssemateeka omupya.
Bannamateeka b’abawaabi nga bakulembeddwaamu Farouk Kizito Kamulegeya era baabadde baagala kkooti eyise ekiragiro ekifulumya Mufti Mubajje mu ofiisi bunnambiro kuba okuva eggulo agirimu mu bukyamu.
Baategeezezza omulamuzi nti baabadde bakitegeddeko nti Mubajje yabadde ateekateeka
okwerayiza ku Bwamufti yeeyongenze emyaka 5 emirala kuba ekisanja kye kyaweddeko.
Omulamuzi Baguma yatadde ku nninga munnamateeka w’abawaabirwa Musa Kabega annyonnyole oba nga ddala waabaddewo enteekateeka z’okulayiza Mubajje ky’ataasobodde kwanukula mu bulambulukufu.
Omulamuzi yamulabudde nti ssinga banaakikola ne balayiza Mubajje mu lukujjukujju, siwaakulonzalonza kusazaamu bye banaaba bakoze. Kabega yategeezezza omulamuzi nti empapula z’emisango egyawawaabiddwa abantu be okuli Uganda Muslim Supreme council, Mufti Mubajje n’abalala zaabadde zibatuuseeko kikeerezi nga tebannazisoma
na kuzimanya.
Baasabye okuweebwayo akadde okunneenya kyokka ne basaba omulamuzi buli kimu kisooke kisigale nga bwe kiri ekitegeeza nga Mubajje y’aba ali mu ofiisi ya Mufti ekintu bannamateeka b’abawaabi kye baawakanyizza.
Baasabye omulamuzi mu kiseera kino ssemateeka omupya ky’alagira kye kiba kigobererwa ekitegeeza nti okutandika n’olunaku lw’eggulo abamyuka ba Mufti be
badddukanya ofiisi okumala ennaku 90 okutuuka okulonda Mufti omupya bwe kunaabawo.
Omulamuzi yalagidde bannamateeka b’abawawaabirwa okwanukula okusaba kw’abawaabi nga March 19, olwo abawaabi baddemu nga 21 omusango gulyoke guwulire nga March 24.
Musa Kasakya nga y’omu ku bawaabi yategeezezza nti ssemateeka eyatereezebwa mu March wa 2022, yalaga nti omuntu okubeera mu ofiisi ya Mufti ateekwa okufuga emyaka 10, bwe giggwaako ng’avaawo wabula Mubajje yaakafuga 24. Eyatutte empapula baamukubye Benson Kato, omukozi wa kkooti nga ye yatutte empapula iwawaabira Mubajje ne banne yategeezezza nga bwe baamukubye era gwe yabadde agenze naye nga ye munnamateeka Sylus Ogul, ne bamugaana okuyingira.
Olweggulo, omwogezi wa Uganda Muslim Supreme Council,
Ziwa Muvawala yabadde ayise olukung’aana lw’abamawulire, wabula ne lusazibwamu ku ssaawa envannyuma wabula nga talina nsonga yaweereddwa
No Comment