Amawulire

Kamoga addayo mu kkooti okuwozesebwa ku misango gy'okukyusa ebyapa

Kamoga avunaanibwa emisango okuli ogw’okujingirira ebiwandiiko n’akyusa ebyapa by'ettaka e Bukaya Ntebe, okwonoona ebintu by’abantu, okufuna obwannannyini ku ttaka ng'akozesa olukujjukujju n'emirala. 

Kamoga addayo mu kkooti okuwozesebwa ku misango gy'okukyusa ebyapa
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

KKOOTI y'e Ntebe etaddewo olwa March 28, 2025 okuddamu okuwulira emisango 8 egivunaanibwa bbulooka w'ettaka Muhammad Kamoga. 

Kamoga avunaanibwa emisango okuli ogw’okujingirira ebiwandiiko n’akyusa ebyapa by'ettaka e Bukaya Ntebe, okwonoona ebintu by’abantu, okufuna obwannannyini ku ttaka ng'akozesa olukujjukujju n'emirala. 

Mu October wa 2024, abalamuzi 3 aba kkooti ejulirwamu baasala eggoye ku kujulira kwa Ssaabawaabi wa Gavumenti kwe yassa mu kkooti eno nga yeemulugunya ku nsala y'omulamuzi wa kkooti enkulu ey'okuyimiriza okuwoozesa Kamoga. 

Bano bakkaanya nti, omulamuzi wa kkooti enkulu yali talina buyinza buyimiriza misango gya nnaggomola egyali givunaanibwa Kamoga mu kkooti y’e Ntebe era nti, kyali kimenya amateeka. 

Kkooti ejulirwamu yasalawo nti, Kamoga teyalina kwe yeesigama okuddukira mu kkooti enkulu okusaba okuyimiriza emisango egimuvunaanwa era kuno kkooti ejulirwamu kwe yasinziira okumenyawo ekiragiro kya kkooti enkulu.

Kamoga avunaanibwa ku ffayiro bbiri, ng'emu kigambibwa nti, wakati wa May 7 ne Febraury 8, 2021 e Wakiso, yakozesa olukujjukujju, n’ajingirira ebiwandiiko ebikyusa obwannannyini ku ttaka eriri ku Busiro Bbulooka 435 Plot 8.

Era nga February 8, 2021, yawaayo ebiwandiiko ebikyusa ettaka ku Bbulooka 435 ku poloti ezisoba mu 100 nga liwezaako yiika 200.

Tags:
Amawulire
Byapa
Ttaka
Ntebe