OBUKIIKO obwatongozeddwa ab’ekisinde ky’omubaka Mathias Mpuuga butabudde abamu ku bassiddwaako bwe bategeezezza nti tebaasoose kwebuuzibwako nga
balondebwa.
Wiiki ewedde, abakulira ekisinde kya Democratic Alliance baatudde u kitebe kyabwe e Namirembe okumpi n’ekkanisa ne balangirira amannya g’abakulembeze abakwanaganya
ekisinde kino mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Kyokka omu ku baalondedwa mu Kampala Central, Labson Kijjambu yeewuunyizza engeri gye baamutadde ku lukalala nga tebasoose kumutegeeza. Yagambye nti, balina
ekisinde kyabwe ekya Generation Risque Front era nga y’akikulira kati bayinza batya okumussa mu kyabwe.
Yategeezezza nti kyabadde kikyamu okumulowooleza ne batasooka kumutuukirira kumutegeeza nsonga n’obwetaavu obuliwo. Agamba nti wadde bonna bali ku ludda luvuganya, okumulonda ku kakiiko nga amanyi kikyamu. Mu kiseera kye kimu n’abakulira ekibiina kya JEEMA baafulumizza ekiwandiiko ku nkolagana yaabwe ’ekisinde kya Mpuuga. Baagambye nti wadde bakolagana nabo naye tebannatuuka ku ssa rimulondesa abantu baabwe n’abawa obukiiko nga tasoose kubeebuuzaako.
Waliyo n’abakulembeze ba NUP e Mubende abaavuddeyo ne balaga nti tebeebuuziddwaako nga babalonda.
Wiiki ewedde, Mpuuga yategeeza nti bagenda kutandika kukuba enkiiko n’okwetooloola eggwanga nga balaga obwetaavu bw’okukyusa Gavumenti era n’ennoongoosereza mu ssemateeka.