NRM eyise abaali bakuuma akalulu ka Faridah Nambi okujja okutandika okukung'aaanya obujulizi
Mar 19, 2025
AB’EKIBIINA kya NRM bayise abaakuliramu okukuuma obululu bwa Faridah Nambi ku kitebbe kyabwe bayambeko okubawa obujulizi bwe banakozesa mu kkooti nga bawakanya obuwanguzi bwa Erias Nalukola owa NUP.

NewVision Reporter
@NewVision
AB’EKIBIINA kya NRM bayise abaakuliramu okukuuma obululu bwa Faridah Nambi ku kitebbe kyabwe bayambeko okubawa obujulizi bwe banakozesa mu kkooti nga bawakanya obuwanguzi bwa Erias Nalukola owa NUP.
Omwogezi w’ekibiina kya NRM mu ggwanga Emannuel Ddombo yakakasiza nti kituufu bayise abantu baabwe abatongole abakulira okukuuma akalulu ka Nambi eyavuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North mu kalulu akakadibwamu oluvannyuma lw’eyali omubaka w’ekitundu kino Mohammad Ssegirinya okufa.
“Tubayise bayambeko okutuwa obujulizi obunanyweza omusango gwaffe gwe tugenda okutwala mu kkooti nga tuwakanya obuwanguzi bwa Nalukoola okulangirirwa ng’omubaka omulonde ow’ekitundu kino”Ddombo bweyategezezza.
Kawempe North erimu ebifo omulonderwa 197, ekitegeeza nti ekibiina ekyesobola nga NRM mu mateeka kikirizibwa okubeera n’abantu babiri ku buli kifo awamu mu bifo 197 babeera abantu 394 NRM beyise.
Ddombo yagambye nti baabayisse okujja ku kitebbe kino buli kiseera ba looya b’e kibiina we banabeera baabeetagira okutandika ne leero.
Bino okutukibwako kiddiridde okusalawo okwakolebwa olukiiko olufuzi olwa NRM [CEC] olwatula mu maka gw’obwa Pulezidenti e Ntebbe nga Nambi yakawangulwa nga lukubirizibwa ssentebe waabwe yennyini Y.K Museveni ne basalawo okukung'aanya obujulizi bagende mu kkooti bawakanye obuwanguzi bwa Nalukola.
No Comment