NEMA esse omukago ne Yunivasite ye Nkozi mu kaweefube w'okusimba emiti okwetooloola ebitundu bya Equator

Mar 22, 2025

Ekitongole ekirwanirira okutaasa obutonde bw'ensi  ekimanyiddwa nga  National Environment Management Authority (NEMA) kisse omukago ne Yunivasite ye Nkozi mu kaweefube gwe baliko ow’okusimba emiti okwetooloola equator.  

NewVision Reporter
@NewVision

Ekitongole ekirwanirira okutaasa obutonde bw'ensi  ekimanyiddwa nga  National Environment Management Authority (NEMA) kisse omukago ne Yunivasite ye Nkozi mu kaweefube gwe baliko ow’okusimba emiti okwetooloola equator.

Kaweefube ono eyatuumiddwa ‘The Equator Green Belt initiative’ yateereddwawo n'ekigendererwa ky'okusimba emiti obukadde buna mu disitulitiki eziriraanye equator okuli; Mpigi, Kazo, Ssembabule, Bukomansimbi, Buvuma, Namayingo, Kitagwenda ne Ibanda.

Abakungu ba Nkozi Yunivasite nga bali wamu n'abakungu ba NEMA oluvannyuma lw'okutta omukago

Abakungu ba Nkozi Yunivasite nga bali wamu n'abakungu ba NEMA oluvannyuma lw'okutta omukago

Abantu b’omu bitundu bino baakusooka kusomesebwa engeri y’okulabiririra emiti oluvannyuma baweebwe endokwa.

NEMA ng’ekiikiriddwa omukungu waayo Francis Ogwal yatadde omukono ku ndagaano ate UMU yakiikiriddwa agikulira, Pulof. Patrick Kyamanywa. Omukolo gwabadde ku yunivaasite eno esangibwa e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi. Era waabaddewo n’olukungaana nga bakuza olunaku lw’ebisolo by’omu nsiko n’obutonde bwensi.

Omugenyi omukulu eyabadde omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulambuzi yakiikiriddwa omukungu Micheal Mugabe eyakubirizza bannayuganda okukuuma obutonde bw’ensi tusobole okubeera abalamu. Oluvannyuma yatongozza kiraabu y’abayizi eya ‘UMU Wildlife club’.

Ogwal yalabudde ku kusaanyaawo emiti n’ebifo abantu we balina okuwummulira ng’abagagga bazimbawo zi akeedi n’agamba nti ekyo kyonoona obutonde ne kiviirako embeera y’obudde okukyukakyuka.

Pulof. Kyamanywa yakubirizza abantu ssekinnoomu n’ebitongole okubeegattako basobole okusimba emiti bataase eggwanga. Yagambye nti yunivaasite yaakasimba emiti 4,100.

Ogwal ku ddyo ng'asimba omuti ku Yunivasite enkozi

Ogwal ku ddyo ng'asimba omuti ku Yunivasite enkozi

Ku mukolo gwegumu, Associate Pulof. Jimmy Spire Sentongo asomesa ku yunivaasite e  Makerere yalaze akatambi omuli ebyewuunyisa ku kizinga Musambwa abatuuze gye bawangaala n’ebinyonyi n’emisota. Kivve omuntu yenna okutta omusota. Kiggundu yagambye nti kino kiraga nti abantu basobolera ddala okutaasa obutonde nga bakozesa obuwangwa. Ekizinga kino kiriko abatuuze 100 ng’abasinga basajja kubanga tekikkirizibwako bakaz

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});