Abaffamire y'omusomesa w'e Seeta eyattiddwa baagala bwenkanya

Mar 25, 2025

GAABADDE maziga, biwobe na kwazirana mu kusabira omubiri gw’abadde omusomesa wa Seeta High School Mbalala Campus, Ivan Oloya eyattiddwa ku Lwomukaaga.

NewVision Reporter
@NewVision

GAABADDE maziga, biwobe na kwazirana mu kusabira omubiri gw’abadde omusomesa wa Seeta High School Mbalala Campus, Ivan Oloya eyattiddwa ku Lwomukaaga.

Abaakwatiddwa Ku By'okutta Oloya.

Abaakwatiddwa Ku By'okutta Oloya.

Oloya okuttibwa yabadde ada waka e Seeta - Bajjo mu Nyenje Ward, Goma division Mukono Munisipaali gy’abadde asula ne mukazi we, Aber Mercy omusomesa ku Code High School.

Omulambo gwa Oloya gwalabiddwa ku ssaawa 7:00 ez’ekiro abantu abaabadde bava ku mufu ne batemya ku poliisi eyatandikiddewo omuyiggo era abantu bataano baakwatiddwa.

Omubiri gw’omugenzi gwatuusiddwa ku Kleziya ya St. Paul e Mukono ku ssaawa 3:00 ez’oku makya wakati mu maziga okuva mu b’eng'anda, abayizi, abasomesa n’abakozi b’oku ssomero.

Abeemikwano Nga Basaasira Nnamwandu Aber Mercy

Abeemikwano Nga Basaasira Nnamwandu Aber Mercy

Mmisa yakulembeddwamu akulira eby’eddiini mu masomero ga Seeta High Schools, Rev. Fr. Peter Ntege Lwazzi eyatenderezza omugenzi nga bw’abadde omusajja okola emirimu gya Mukama obuteebalira, omumalirivu, era ayagala omulimu gwe.

Abayizi n’abaasomerayo batenderezza omugenzi olw’ekitone ky’okusomesa era nga yabaagazisa essomo lya History ly’abadde asomesa.

Aba ffamire okubadde muganda we Titus Odongo ne Namwandu Mercy Aber bavumiridde ettemu n’obubbi obweyongedde mu ggwanga ne basaba Gavumenti okukola ekisoboka okulaba ng’abafiirwa abantu baabwe bafuna obwenkanya.

 

Minisita w’amatendekero aga waggulu, Dr. JC Muyingo yaweerezza obubaka obwasomeddwa omukulu w’essomero lya Seeta High Green Campus, Paul Alibundi mwe yasaasiridde abaffamire y’omugenzi n’abasuubiza okusigala nga batambulira wamu.

Omugenzi alese omwana omu, waakuziikibwa ku Lwokutaano e Kitgum.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});