Gavumenti egenda kuliyirira UMEME obuwumbi 432 n'obukadde 600

Mar 27, 2025

SSAABABALIRIZI w’ebitabo bya gavumenti Edward Akol ayanjulidde sipiika wa palamenti alipoota ku nsimbi ez'enkomeredde  gavumenti zeteekeddwa okuyiririra kapuni ya UMEME  obuwumbi 432 n’obukadde 600. 

By Edith Namayanja
Journalist @New Vision

SSAABABALIRIZI w’ebitabo bya gavumenti Edward Akol ayanjulidde sipiika wa palamenti alipoota ku nsimbi ez'enkomeredde  gavumenti zeteekeddwa okuyiririra kapuni ya UMEME  obuwumbi 432 n’obukadde 600. 

Kinajjukirwa nti mukusooka gavumenti yali esuubira ensimbi ez’okuyirira UMEME zaali zakubeera obuwumbi 700 wabula ensimbi ezikakasiddwa ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ziri wansi we nsimbi ezaali zaateberezebwa gavumenti obuwumbi 267 n’obukadde 600. 

Sipiika wa palamenti Anita Among bwabadde akwasibwa alipoota eno akikkaatirizza nti gavumenti erina okusasula obuwumbi 432 n’obukadde 600 obukakasiddwa ssaababalirizi so si obuwumbi 700 obwali bwayisibwa palamenti wiiki ewedde.

Sipiika Among ategeezezza nti ensimbi ezayisibwa wiiki ewedde zaliiko akakwakulizo nti zirina kusasulwa oluvanyuma lwa alipoota ya ssaababalirizi era nga zezirina okusasulwa. 

 Wiiki ewedde, Palamenti yakkiriza okusaba kwa gavumenti okwewola obuwumbi 700 okuva mu banka ya Stanbic okuliyirira UMEME wabula palamenti ensimbi zino yazisaako akakwakulizo nti zirina kusooka kukasibwa ssaababalirizi.

 Sipiika  era yeebazizza ekitongole kya ERA ne UEDCL  olw'okuwa ssaababalirizi ebiwandiiko byonna byebetaaga okukola omulimu guno  n’asaba gavumenti okulaba nga bannayuganda bafuna obuwereeza obulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});