Omusibe azirikidde mu kkooti bannamateeka ne babuna emiwabo
Mar 28, 2025
Kkooti eragidde omu kubagambibwa okugezaako okutta Minisita w’ebyenguudo Gen Katumba Wamala akeberebwe obulwadde obumuluma, alipoota eweebwe kkooti olutuula oluddako.

NewVision Reporter
@NewVision
Kkooti eragidde omu kubagambibwa okugezaako okutta Minisita w’ebyenguudo Gen Katumba Wamala akeberebwe obulwadde obumuluma, alipoota eweebwe kkooti olutuula oluddako.
Kino kiddiridde omuwawaabirwa Abdulaziz Ramathan Dunku okuzirikira mu kkooti omusango bwegubadde gukomyewo okumaliriza enteekateeka z'okutandika okuleeta obujulizi ekireseewo okwesiba ku bibadde bigenda maaso.
Dunku asoose kuyimirira ne banne mu kaduukulu kyokka wayise akaseera katono n'atuula mu katebe mu ngeri ekanze kkooti ekiwalirizza abalamuzi okubuuza ogubadde , era wano ab'amakomera babuulidde kkooti nti mugonvu kyavudde atuula.
Ekyongedde okukanga kkooti Dunku embeera eyongedde okutabuka nagwa eri, ne yeesika olwo abaamakomera ne batandika okuyambako okusituka kyokka bakira yeesika ,ekiwalirizza kkooti okuwummulamu omulamuzi n'alagira atwalibwe wa bweru .
Oluvanyuma kkooti ezzeemu bannamateeka babawawabirwa okuli Evans Ocieng ne Geoffrey Turyamusiima ne bakkiriza kkooti egende mu maaso wadde nga taliiwo.
Kkooti eragidde abamakomera nabo bonna abayinza okukwatibwako okutwala Dunku akeberebwe okuzuula ekirwadde ekimutawanya era alipoota yabasawo eyanjulirwe kkooti olutuula oluddako.
Dunku avunaanibwa nabalala okuli Muhammed Kagugube,Kamada Walusimbi,Silman Kisambira, Habib Ramathan Marjan ne Muzaifa Wampa nga bavunaanibwa okutta muwala wa minisita katumba Wamala nga ye Brenda Nantongo wamu ne dureeva we Harunah Kayondo.Era kigambibwa baagezaako okutta Boniface Mucunguzi n’omukuumi Sgt Khalid Kuboit.
Bano era bavunaanibwa okwenyigira mu bikolwa ebyekitujju, okuwagira abatujju ,obwakkondo nemirala.
Babadde mu kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gwensi yonna e Wandegeya kkooti newa olwa April 24,2025 okutandika okuwulira obujulizi bwoludda oluwaabi.
No Comment