Bannayuganda batenderezza emirimu gya munnamawulire Shaka Ssali
Mar 30, 2025
ABANENE mu Gavumenti bakungubadde abadde munnamawulire ow’amaanyi Shaka Ssali eyamanyika ennyo okuweereza pulogulaamu eya Straight Talk Africa

NewVision Reporter
@NewVision
ABANENE mu Gavumenti bakungubadde abadde munnamawulire ow’amaanyi Shaka Ssali eyamanyika ennyo okuweereza pulogulaamu eya Straight Talk Africa ku TV ya Voice of America eyafudde ku Lwokuna.
Ssali 71, yafudde oluvannyuma lw’okulongoosebwa ebirwadde ebirudde nga bimutawaanya ng’abadde abuzaayo wiiki bbiri okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 72. Ssali abadde abeera mu Amerika gy’akoledde omulimu gw’amawulire, era okufa kwe kwakanze bangi.
Sipiika wa Palamenti, Annet Anita Among mu bubaka obukubagiza aba ffamire ya Ssali yagambye nti, wadde Ssali emyaka gye egisinga abadde mu Amerika yasigala ayagala ensi ye Uganda ne Africa olw’emboozi ze yakolanga.
Omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa gwe yamwogeddeko ng’omu ku byamaguzi eby’amaanyi Uganda bye yali eweerezza mu Amerika n’anyolwa olw’okufa kwe.
Ssali ava mu bitundu bya Kigezi. Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi yagambye nti, nga munnamawulire eyali atandika yeegombanga nnyo Ssali era mu 2016, Ssali bwe yali omu ku baali babuuza abeesimbyewo ebibuuzo mu kukubaganya ebirowoozo ku baali bavuganya ku Bwapulezidenti, yafuna omukisa kubanga ye yali kalabaalaba ku mukolo ogwo.
Eyaliko Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, Amama Mbabazi, omubaka wa Uganda mu UN Adonia Ayebare, munnamawulire wa BBC, Allan Kasujja, pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abalala, nabo baamukungubagidde.
Shaka Ssali Munnayuganda azaalibwa Kabale nga yasomera ku Kikungiri P/S ne Kigezi High School. Yadduka mu ggwanga mu 1964 oluvannyuma lw’okugambibwa nti, yalina akakwate ku lukwe lw’okumaamulako Gavumenti ya Idi Amin.
No Comment