Amawulire

Idd e Makerere ; "Uganda yandibadde wala mu nkulaakulana ssinga buli muntu akola obuvunaanyizibwa bwe"

IMAM Sharif  Kiggundu avumiridde abakulembeze abatakoze ku bizibu binyigiriza Bannayuganda amataba ne gatuuka okutta abantu awatali ataasa.

Idd e Makerere ; "Uganda yandibadde wala mu nkulaakulana ssinga buli muntu akola obuvunaanyizibwa bwe"
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

Okusaala Eid ul fitr e Makerere

IMAM Sharif  Kiggundu avumiridde abakulembeze abatakoze ku bizibu binyigiriza Bannayuganda amataba ne gatuuka okutta abantu awatali ataasa.

Abasiraamu Mu Muluka Gwa Makerere III e Kawempe Baasalidde Ku Kasaawe Ka Ssebina Zooni.

Abasiraamu Mu Muluka Gwa Makerere III e Kawempe Baasalidde Ku Kasaawe Ka Ssebina Zooni.

Kiggundu yasinzidde mu kusaazisa abantu Eid ku kisaawe  kya Ssebina zzooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe n’ategeeza nti ssinga buli muntu akola obuvunaanyizibwa bwe mu bwerufu, Uganda yandibadde wala mu nkulaakulana.

Ono Hajati Yasaalidde Mu Ssebina Zooni E Kawempe (2)

Ono Hajati Yasaalidde Mu Ssebina Zooni E Kawempe (2)

Yayongeddeko nti abasinga emirimu bagikolera mu ofiisi ng'ensonga y'amataba baludde nga bagimanyi naye nga tebafaayo kuzimba myala n'okuyoola kasasir.

Yagasseeko n’asaba Abasiraamu okugenda mu maaso n’empisa ze babadde nazo, mu kisiibo. Abasiraamu baasonze ssente z’okuzimba omuzikiti gw’omu Kibe zzooni.

Tags:
Makerere
Kibe zzooni
Kusaala
Idd