WALIWO okutya okw'amaanyi nti ababundabunda abawangaalira mu nkambi ez’enjawulo mu Uganda boolekedde okufa enjala ani amuwadde akatebe olwa gavumenti okubulwa ‘kyebaliisa.
Bino bitegeezeddwa minisita omubeezi owa guno na guli mu ofiisi ya Ssaabaminisita, Justine Kasule Lumumba, bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensonga z’obwapulezidenti okwogera embalirira yaabwe ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/26.
Lumumba yagambye nti mu kadde kano, Uganda erimu ababundabunda akakadde kamu n’emitwalo 75 mu 9000 mu 496 kyokka nga abavujjirizi ababadde bawa Uganda obuyambi obw’okuliisa ababundabunda baabawandiikidde nti akasente ke balinawo tekakyasobola kusussa myezi esatu.
Kino kitabudde ababaka ku kakiiko era omubaka omukayala ow’e Busia, Hellen Auma yeewuunyiza okuba nga ne mukadde kano ababundabunda bongera okuyingira eggwanga kyokka nga kati tewali kyakubaliisa, n’asaba minisita ayogere ku nsonga y’okuba nti tebakomya kubakkiriza kuyingira.
Omubaka wa Nakawa East, Ronald Balimwezo anenyeza gavumenti olw’okulemererwa okukwasaganya ababundabunda nga kati be bagagga mu bitundu bannayuganda mwe balina okweyagalira nga e Kansanga beefuze buli mulimu.
Ssentebe w’akakiiko kano, Alex Byarugaba asabye ofiisi ya ssaabaminisita okuvaayo n’enteekateeka ku ki kye bagenda okukolera ababundabunda mu mbeera eno.