Ensobi abasajja zebakola ezigoba abakazi bebaperereza
Apr 01, 2025
ABASAJJA abamu babulwa abakyala ab’okuwasa si lwakuba nti abakazi be bafuna baba tebalina mpisa, naye lwa nsobi, abasajja bennyini ze bakola naddala ng’omukwanogutandika ezigoba abakazi abandibaagadde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
ABASAJJA abamu babulwa abakyala ab’okuwasa si lwakuba nti abakazi be bafuna baba tebalina mpisa, naye lwa nsobi, abasajja bennyini ze bakola naddala ng’omukwano
gutandika ezigoba abakazi abandibaagadde.
Ate ekisinga okuleeta obuzibu, nti omukazi bw’akufunamu enkenyera oba okukwekengera mu mutima gwe ku ntandikwa, kimubeerera kizibu okuguma n’asalawo
okukwesigisa obulamu bwe.
Shamim Namuli, abuulirira abaagalana ng’asinziira Buloba agamba nti osanga omusajja eyeemulugunya nti mu bakazi enkumu abali mu nsi, abuliddwa amwagala kyokka
ng’ensonga ye ey’okubulwa esibuka ku ye, okuba ng’alinamu emize, egigoba abakyala b’aba aperereza.
Namuli, ezimu ku nsonga zino ezigoba abakyala ku basajja ababeera abeetegefu okubawasa azinnyonnyola bwati; 1. Okulaga obwangu obususse okugwa mu mukwano naye ate ng’oyagala gubeere munyuvu amangu ago: Omusajja ayinza okusisinkana omukazi mu ddakiika budakiika, ky’azzaako okumugamba nti; ‘nkwagala’ ate ng’amangu ago, era ayagala omukazi amwanukule nti ‘nange nkwagala’. Abamu ku bakazi, wano we baggya endowooza nti osanga ggwe omusajja, toli siriyaasi kuba ogwa otya mu mukwano n’omuntu mu budakiika obutono ate naawe n’oyagala akwagale amangu ago? Kyokka omusajja ayinza okuba ali siriyaasi naye omukazi ne era n’amwetegula. Si kugamba nti laavu eya kagwirawo teriiyo, naye kiba kya bugunjufu, ggwe omusajja okuwa omukazi obudde gw’oba osiimye omanye ekimuli ku mutima sso si kugenda na mukazi afunyeemu ekyoyooyo eky’okukwagala kuba gye bikomekkereza, taba na laavu era emikisa mingi egy’okukulekawo2. Okwanguyiriza okwagala
okumwefunza n’oyagala omusseeko amateeka nga mwakatandika:
Abamu ku bakazi baagala nnyo abasajja ababaleka okubeer kyo kye bali. Naye waliwo ekika ky’abasajja oba abavubuka abapaperereza omuwala ne banguyiriza
okubassaako amateeka, ne bakisussa. Abasajja abamu bakola ensobi, n’alaba omuwala
leero, n’ayagala okumwefunza n’atandikirawo okumugamba by’alina okukola ne by’atalina kukola. Oluusi, abamu abakola kino, bakikolera mu butamanya n’alowoozaamu nti omuwala gw’afunye mulungi nnyo era eriyo bangi abayinza okumumubbako olwo n’alyoka amussaako olukomera ssinzigu.
Kya butonde, teri muntu ayagala muntu amubeerako buli kadde ate nga waakamufuna, kati ateeberezaamu bwe kinaabeera ng’ofuuse wuwe ddala! Namuli agamba nti kisaana, omukazi gw’oba osiimye n’omulekera eddembe lye n’alema kulowooza nti omukwano gwe yayingidde yeesozze kkomera kumumalako ddembe lye. Kino bw’olema okukikola, omukazi ali siriyaasi bw’omussaako ennyo olukomera, ayinza okwesikamu
tasobola kugenda naawe ng’omulagiddewo nti ogenda kumulondoola buli w’anadda abulwe n’obudde obwetaaya.
3. Okwogera ku muntu gwe wali oyagala: Omuntu gwe wali obaddeko naye mu mukwano, osobola okumwogerako akatono naye ate bw’efuuka enkola nga buli kadde omuleeta mu bintu byammwe nga bw’ogeraageranya ate ng’oluusi omutendereza, omupya bimutama. Ate era ne bwe kiba ng’ebigambo by’omwogerako si birungi, era omukyala gw’oli naye akukubamu ebituli nti ebyayita oleeta byaki mu bipya.
Bwe kiba ng’okwogera ku muntu oyo gwe wayawukana naye tekyewalika, beera n’ekkomo ng’ensonga eyabaawukanya oboolyawo omupya gw’oli naye asobola okugiggyamu ekyokuyiga n’okoma awo. Omukazi omupya gw’oba ofunye ne bw’aba akusunaasuna okukuggyamu ebigambo ku muntu gwe wali naye mu laavu, ggwe nga omusajja tolina kweteteggula kwemalamu.
4. Okubeera omukodo: Eriyo abasajja abatayagala kugabira bakazi naye teri mukazi ayagala musajja mukodo. Ate mwattu abasajja abamu ab’ennaku zino, baakuze ngeri ng’ate bo banyumirwa nnyo okuweebwa naye bwe kituuka ku okugaba, obeera olina
kumusokaasoka ennyo.
Abakazi, baagala nnyo okuweebwa nga ne bw’oba olina katono, n’okamuweera mu mukwano era kamusanyusa. Kuno tekuba kujaajaamya ssente naye bw’oba osobola okuyamba omukyala mu budde bwe yeetaagira, kikole osobole okumunyweza ng’abalala
tebannamutega butego bumupasula.
Obukodo tebukoma ku bwa ssente zokka naye wabaawo omusajja ng’obukodo bwe, butuuka ne ku kugabana ebirowoozo n’omukyala gw’ayagala.
Omukazi bw’akulaba mu mbeera eno, yandikuddukako n’otandika okwebuuza kye waba
No Comment