Abakungubazi baligise owa Poliisi emiggo ne bamutta
Apr 07, 2025
Abakungubazi ku kyalo Bisheshe mu disitulikiti ye Ibanda, bakkidde omuserikale wa Poliisi ne bamuligita emiggo okutuusa lw’asizza omukka gwe ogw’enkomerero.

NewVision Reporter
@NewVision
Abakungubazi ku kyalo Bisheshe mu disitulikiti ye Ibanda, bakkidde omuserikale wa Poliisi ne bamuligita emiggo okutuusa lw’asizza omukka gwe ogw’enkomerero.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Rwizi, Samson Kasasira yategeezezza nti, omugenzi ye namba-75290 PC Suleiman Chemonges, 28, era ng’abadde emirimu gye abadde agikolera ku Poliisi ye Bisheshe.
Kigambibwa nti PC Chemonges, yabadde asindikiddwa bakamaabe okukuuma eby’okwwerinda mu kuziika omusibe -Lazarus Kahangire, agambibwa okuba nga yafiiridde mu kaduukulu ka Poliisi ye Nyabuhikye, mu disitulikiti y’e Ibanda, gye yali yaggalirwa ku misango egyekuusa ku ttaka.
Aba ffamire ye bagamba nti, wadde nga Poliisi yamanya ng’omuntu waabwe mulwadde, tebaabategeeza yadde okumutwala mu ddwaliro afune obujjanjabi, baabadde bali awo nga babaleetedde mulambo.
Kiteeberezebwa nti kino kye kyajje abakungubazi mu mbeera ne basalawo okwesasuliza ku wa Poliisi okulaga obutali bumativu bwabwe.
Poliisi egamba nti yasobodde okuzuula emmundu n’amasasi 16, omugenzi bye yabadde nabyo, oluvannyuma omulambo gwe ne bagutwala mu ggwanika ly’eddwaliro lya Ruhoko Health Centre, nga n’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Wabula Poliisi yeeweze okujjayo n’agomubuto okulaba nga buli eyeenyigidde mu ttemu lino akwattibwa amateeka gamulamule.
No Comment