Eryato lisse 5 ku nnyanja Nnalubaale
Apr 09, 2025
Poliisi mu bitundu by’e Masaka ekakasizza bwe waliwo abantu bataano abaafiiridde mu nnyanja Nnalubaale oluvannyuma lw’omuyaga ogw’amaanyi okukuba eryato mwe baabadde mu kiro ekyakesezza ku Mmande.

NewVision Reporter
@NewVision
Poliisi mu bitundu by’e Masaka ekakasizza bwe waliwo abantu bataano abaafiiridde mu nnyanja Nnalubaale oluvannyuma lw’omuyaga ogw’amaanyi okukuba eryato mwe baabadde mu kiro ekyakesezza ku Mmande.
Baabadde bava ku myalo egy’enjawulo okuli; Kivunza ku kizinga Bunyama, Nakawa ku kizinga Bugaba, Buwunge ku kizinga Bufumira ne Bbosa ku kizinga Sserinya, byonna ebiri mu ggombolola y’e Bufumira mu Kalangala.
Abalunnyanja Nga Beepakidde Ku Lyato Ng'abamu Tabambadde Bujaketi
Eryato lyabaddemu abantu 10 nga basuubuzi b’amanda n’emmere bye baabadde batwala mu katale e Nakiwogo mu Ntebe.
Sadati Bogere, abadde maneja w’eryato lino nga ye yasimattuse, agamba nti baatandise okutikka ebyamaguzi ku ssaawa 5:00 ez’ekiro era we zaaweredde ssaawa 7:00 nga batandise okwolekera e Ntebe.
Wabula ku ssaawa 9:00 ez’ekiro, akasinsi ak’amaanyi kaatandise okukunta n’enkuba okukkakkana ng’eryato lijjudde amazzi ne libbira. “Nagezezzaako okugamba bannange nti musene amazzi ne tusuula n’ensawo z’amanda mu nnyanja wabula kyabadde kikereezi era bannaffe bataano, tetubalabako,” Bogere bw’agamba.
Abagambibwa okufiira mu kabenje kano kuliko; Sarah Kabuwo, Owimana Alera, Munyaleza Ndayirwa ssaako abaategeerekeseeko erinnya erimu okuli Mayanja ne Emmanuel. Abaawonyeewo kuliko; Moses Bukenya, Musa Mukonjo, Foster Musinguzi, John Mukiza ne Bogere.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka, Twaha Kasirye akakasizza okuyiikamu kw’eryato lino n’ategeeza nti okunoonyereza kutandikiddewo n’okunnyulula emirambo mu nnyanja
No Comment