Omulabirizi wa West Buganda akyusizza abaweereza basatu

Apr 15, 2025

OMULABIRIZI wa West Buganda omuggya, Rt. Rev Guster Nsereko akyusizza abaweereza okwongera okutumbula obuweereza.

NewVision Reporter
@NewVision

OMULABIRIZI wa West Buganda omuggya, Rt. Rev Guster Nsereko akyusizza abaweereza okwongera okutumbula obuweereza.
Okusinziira ku bbaluwa eyafulumiziddwa nga April 11, 2025, ng'eteereddwaako
omukono gw’omuwandiisi w’obulabirizi, Rev. Can. Moses Kayimba, abaweereza basatu
nga ababiri bali ku mutendera gwa ssaabadinkoni be baakyusiddwa okuva mu bitundu gye
babadde baweerereza.
Abaakyusiddwa kuliko; Rev. Can. Enock Muhanguzi abadde ssaabadinkoni w'e
Kijjabwemi nga yatwaliddwa e Ssembabule, Rev. Can. Patrick Ssimbwa abadde e Ssembabule n'azzibwa e Kijjabwemi, ate Rev. Grace Kiwoloma nga naye
abadde Kijjabwemi aweerezeddwa mu kkanisa e Rakai.
Abaakyusiddwa baalagiddwa okutuuka mu bifo nga Olwokuna
olutukuvu terunnatuuka batandike obuweereza

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});