Eyaliko DPC eyafiiridde mu 'Septic tank' akwasizza mukazi we

Apr 22, 2025

EYALI omuduumizi wa Poliisi mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo okuli Jinja Road, Butambala n’ewalala eyasangiddwa ng’afiiridde mu maka ge akwasizza abantu 4 okuli ne mukyala we.

NewVision Reporter
@NewVision

EYALI omuduumizi wa Poliisi mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo okuli Jinja Road, Butambala n’ewalala eyasangiddwa ng’afiiridde mu maka ge akwasizza abantu 4 okuli ne mukyala we.

SSP Julius Ahimbisibwe yasangiddwa ng’afiiridde mu maka ge ku kyalo Nakitokolo mu Kyengera Town council mu disitulikiti y’e Wakiso mu kiro ekyakeesezza Mmande.

Ahimbisibwe yakwatibwako ku by’okukuba mukazi we amasasi. Kigambibwa nti omulambo gwe gwaggyiddwa mu kinnya kya kazambi nga kirowoozebwa nti yandiba nga yesse.

Ahimbisibwe abadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti ku musango gw’okukuba mukazi we Anita Namusoke amasasi ku mukono nga March 5, 2024, ng’ono agenze okufa ng’akyawerennemba n’omusango gw’obutemu.

Mukazi we akwatiddwa n'abalala 3!
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Rusoke Kituuma yategeezza nti amawulire g’okufa kw’omuserikale baagafunye mu kiro ekyakeesezza Mmande era baasitukiddemu okugenda mu maka ge okunoonyereza.

Abaserikale baakulembeddwamu DPC w’e Nsangi Rogers Chiben era baagenze okutuuka mu maka g’omugenzi ng’omulambo gulengejjera mu kinnya kya kazambi emmanju. Baaayise abazinyamooto ne baggyayo omulambo okugutwala mu ggwanika e Mulago.

Kituuma yagambye nti mukazi we Namusoke yakwatiddwa n’abantu abalala 3 nga baasoose kuggyibwako sitatimenti oluvannyuma ne baggalirwa ku Poliisi.

Omukazi bye yayogedde
Namusoke nga tannakwatibwa yategeezezza Bukedde nti bba abadde takyabeera waka kyokka ng’ajjawo obwolumu okubaleetera obuyambi nga ku Lwomukaaga nga bukya yankubira essimu ng’ayagala muggulire kyokka yali atamidde.

Wayita eddakiika ntono n’atandika okunkubira eng'ombe ku ggeeti era n'amusaba angumiikirize kubanga ekisumuluzo nnali sikiraba.

Wano we waatandikira oluyombo okutuusa ku Ssande bwe nnasazeewo okumuviira nga ndaba atabuse.

Nagenze okudda nnamusanze yeggalidde ne nnyingira sitoowa mwe nasuze kyokka essaawa zaabadde ziyingira omusanvu ogw’ekiro ne mpulira omuntu ayogera ku ssimu okumpi n’ekinnya kya kazambi nagenze okwetegereza nga taata w’abaana era yabadde aliko gwakubira essimu ng’amutegeeza nga bw'agenda okwetta.

Nakutte akatambi era nalabye yeeyambise ekigoye ne nzigulawo ne nfuluma ebweru wa ggeeti okuyita baliraanwa wabula twagenze okudda ng’afudde ne tukubira aboobuyinza.

Namusoke agamba nti yagenze okuva ewa bba yamulese ku lubalaza ng’anywa mwenge nga kirabika gwe gwamutabudde ne yeekyawa.

Ssentebe w’ekyalo, Augustine Walakira yategeezezza nti omugenzi abadde yaakaddamu okulabwako ku kyalo ennaku ssatu emabega.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});