EYALI DPC wa poliisi ya Jinja Road SSP Julius Ahimbisibwe eyakwatibwa ku by’okukuba mukazi we amasasi omwaka oguwedde afiiridde mu kinnya kya kazambi.
Bino byabadde ku kyalo Nakitokolo mu Kyengera Town council mu disitulikiti ye Wakiso mu kiro ekyakeesezza Mmande.
Ahimbisibwe abadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti ku musango gw’okukuba mukazi we Anita Namusoke amasasi ku mukono nga March 5,2024, ng’ono agenze okufa ng’akyawerenemba n’omusango gw’obuttemu.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Rusoke Kituuma ateegeezezza nti amawulire gw’okufa kw’omusirikale waabwe bagafunye mu kiro ekyakeseza Mmande era basitukiddemu okugenda mu maka ge okunoonyereza.
Abasirikale baffe nga bakulembeddwamu DPC we Nsangi Rogers Chiben bagenze okutuuka mu maka gw’omugenzi ng’omulambo gulengejjera mu kinnya kya kazambi emanju era basobodde okukwatagana n’abazinya moto nebasawo omulambo okugutwala mu gwanika e Mulago.
Tusobodde okujja sitatimenti ku mukyala w’omugenzi n’abantu abasangiddwa mu maka gano okutuyambako mukunoonyereza.

Abakungubazi
Namwandu Namusokle yategeezezza nti bba abadde takyabeera waka kyokka ng’ajawo obwolumu okubaleetera obuyambi nga ku Lwomukaaga ng’abukya yankubira esiimu ngayagala mugulire kyokka yali atamidde.
Wayita eddakika ntono natandika okukubira engombe ku ggeeti era namusaba angumikirize kubanga ekisumuluzo nali sikiraba wabula nalemerako era wano wewatandikira oluyombo okutuusa ku Ssande wenasazeewo okumuviira ng’andaba atabuse.
Nagenze okudda namusanze yegalidde nenyingira sitoowa mwe nasuze kyokka ssaawa zabadde ziyingira omusanvu ogw’ekiro n’empulir omuntu ayogera ku siimu okumpi n’ekinnya kya kazambi nagenze okwetegereza nga taata w’abaana era yabadde aliko gwakubira essimu nga mutegeza nga bwagenda okwetta.
Nakutte akatambi era nalabye yeyambise ekigoye nenzigulawo nenfuluma ebweru wa ggeeti okuyita balirwana nga twagenze okudda ng’afudde netukubira ab’obuyinza.
Namusoke agamba nti yagenze okuva ewa bba yamulese ku lubalaza ng’anywa mwomwenge nga kirabika gwe gwamutabudde neyekyawa.
Ssentebe w’ekyalo Augustine Walakira yategeezezza nti omugenzi yabadde yakadamu okulwabwako ku kyalo ennaku ssatu emabega nga bazemu kufuna mawulire nti afudde.
Yavumiridde ebikolwa eby’obutabanguko mu maka nasaba abafumbo okusala amagezi gw’okugonjolamu obutakkanya bwabwe mukifo.
Ssentebe wa Kyengera Town coucil Mathias Walukagga yavumiridde kkooti olw’ekikkolwa ky’okuyimbula omuntu eyenyigira mu kikolwa ky’okwagala okutta omuntu ate nakirizibwa okudda mu bantu.
Atwala eby’okwerinda ku kyalo Nakitokolo Ashiraf Ssemogerere yagambye nti abasajja bangi bayita mukunyigirizibwa okutali kumu mu maka kyokka abasinga tebasobola kuvaayo mu lwattu nasaba abantu okutagezaako kusalira mugenzi musango.
Yakubirizza abafumbo okuyiga embeera ey’okwesoyiwa kubanga abafumbo bano baludde nga balina obuzibu obumanyiddwa obwavaako n’omugenzi okugezaako okutta mukyala we omwaka oguwedde.
Poliisi oluvannyuma ekutte Namusoke agiyambeko mukunoonyereza nga n’emmotoka y’omugezi etwealiddwa ku poliisi ye Nsangi