Owa S3 abadde akozesa erinnya lya Ham okunyaga abantu ku yintaneeti asibiddwa n'abalala 2
Apr 23, 2025
OMUYIZI wa siniya ey’okusatu asindikiddwa Luzira ku bigambibwa nti yeekobaana n'abantu abalala babiri okweyita nagagga Ham.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUYIZI wa siniya ey’okusatu asindikiddwa Luzira ku bigambibwa nti yeekobaana n'abantu abalala babiri okweyita nagagga Ham.
Ruth Nandase awamu ne Babu Maniharah, ow’emyaka 33, omuzimbi, be baaleetebwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi eyabasomedde omusango ogw'okefuula kye batali ne bagwegaana.
Bombi bagguddwako emisango ebiri okuli ogw'okweyita kye batali n'okukozesa olukujjukujju okunyaga ssente mu bantu ekikontana n'amateeka ga Uganda.
Bano bavunaanibwa wamu n'omuvubuka ayitibwa Frank Ssempa, ow’emyaka 25, omutembeyi, eyakwatibwa n'atwalibwa mu kkomera e Luzira.
Omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze yategeezezza kkooti nti okunoonyereza kuwedde n'asaba olunaku omusango lwe gunaatandika okuwulirwa.
Kyazze, yategeezezza kkooti nti wakati wa 2023 ne February 2024, Sempa, Maniharah, Nandase, n’abalala abatannakwatibwa, baakozesa olukujjukujju ne balimba nti be ba Hamis Kiggundu owa Hamis Enterprises Ltd, nga bagenderera okubba abantu mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala.
Empaaba ya kkooti yalaze nti nga January 29, 2025, Sempa yaggya ku Shafic Kawooya emitwalo 5 ng’amulimba nti ye Ham n'ekigenderwa eky'omuyamba okufuna looni.
Era kigambibwa nti omu Karim Sserugo akola nga omwogezi wa Ham bwe yasanga omuntu ku mukutu gwa Tiktok eyali yeeyita Ham ng’agamba nti ayamba abantu abalina obwetaavu kyamuwaliriza okutandika okwogera naye n'ekigenderwa eky'okumumanya.
Sserugo bwe yategeera nti mufere ekigendererwa kye kyakubba bantu yasalawo okugenda ku poliisi n’aggulawo omusango,mu kunoonyereza kyazuulibwa ng’ennamba eyali ekozesebwa yali ya Nandase wamu ne Maniharah.
Bano baaleeteddwa mu kkooti eyabagguddeko emisango gy’okwefuula kye batali oluvannyuma ne basindikibwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga April 28, 2025.
No Comment