Mukolerere emirembe nga Paapa bw’abadde abasaba -SsaabasumbaBianco

OMUBAKA wa Paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco asabye abantu okukolera emirembe kubanga ne Paapa Francis abadde ayagala nnyo abantu okubeera mu mirembe.Ssaabasumba Bianco mu bubaka bwe bwe yaweeredde ku kitebe kya Paapa mu Uganda e Mbuya yagambye nti emirembe gino girina kutandikira mu maka okutuukira ddala mu ggwanga lyonna.

Mukolerere emirembe nga Paapa bw’abadde abasaba -SsaabasumbaBianco
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUBAKA wa Paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco asabye abantu okukolera emirembe kubanga ne Paapa Francis abadde ayagala nnyo abantu okubeera mu mirembe.
Ssaabasumba Bianco mu bubaka bwe bwe yaweeredde ku kitebe kya Paapa mu Uganda e Mbuya yagambye nti emirembe gino girina kutandikira mu maka okutuukira ddala mu ggwanga lyonna.
Yagambye nti, Paapa Francis abadde awa obubaka bw’okwagaliza, okuwa essuubi wamu n’okukola ebikolwa eby’okuyamba eri abantu naddala abali mu bwetaavu.
Yasabye Abakatoliki mu nsi yonna okusabira Bakalidinaali, mwoyo mutuukirivu abakkire basobole okulonda Paapa omupya.
Ate ye Omusumba w’essaza lye Kotido eyawummula, Filippi Giuseppe yasabye abakulembeze mu mawanga ga kirimaanyi obutayonoona nnyo ssente nga baweesa ebyokulwanyisa bya nukiriya wabula baweeyo obudde okuteekaawo enkola ey’okuteesa mu nsi eyo eri entalo kubanga Paapa Francis abadde ayagala abakulembeze abasoowaganye okuteesa.