Ffamire ya BMK erumbye e Buziga n’enunula ekizimbe
Apr 24, 2025
ABAANA b’omugenzi Bulaimu MUwanga Kibirige ‘BMK’ nga bali n’aba ffamire abalala balumbye e Buzinga ewali emu ku mmaali yaabwe ebadde yanyagibwa ne banunula ekizimbe.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAANA b’omugenzi Bulaimu MUwanga Kibirige ‘BMK’ nga bali n’aba ffamire abalala balumbye e Buzinga ewali emu ku mmaali yaabwe ebadde yanyagibwa ne banunula ekizimbe.
Ekizimbe kino ekisangibwa ku Mulamula Road, Block 273 Plot 44 kibaddeko kalumannywera ng’aba BMK balumiriza omusajja Dan Meshack Okware agambibwa okugula Plot 46 ku Yako Bank ate okweddiza ekizimbe ekitaaliko bbanja lyonna.
Aba ffamire nga bakulembeddwa muganda w’omugenzi, Haruna Kalule Kibirige baakedde kweyiwa Buzinga nga bali n’omupunta ne tulakita ya ‘Weetiiye’ ne beerula empenda za poloti yaabwe weesaliza. Obwedda we bamala okupima nga basiigawo langi okukakasa we bayitira.
Okulumba e Buziga kyaddiridde okufuna ekiragiro kya kooti eky’omulamuzi Samuel
Kagoda Ntende nga March 27, 2025 ng’alagira Okware obutataaganya mirimu egikolebwa ku poloti 44 okutuusa nga kkooti esazeewo ekyenkomeredde ku musango gwe baaloopa oguli ku fayiro nnamba 0671/2025.
Okuva olwo ffamire ebadde eremeddwa okuteekesa ekiragiro mu nkola oluvannyuma lw’okwewuuba ku poliisi nga babajuliza RCC we Makindye, Caroline Nashemeza. Kyokka baagenze okulaba nga ebya RCC tebituukirira ne basalawo okwetuukira wadde nga tebalina bukuumi.
Mu kiseera we baalumbidde, abakozi b’omugagga Okware gwe bagamba eyagula poloti 46 okuva mu bbanka nga tebaliiwo. Okware bamulumiriza nti bwe yagula poloti
eyasingibwa mutabani wa BMK, ayitibwa Haruna Kalule Muwanga ate yayagala n’okutwaliramu eya poloti 44 eriraanyewo.
Muwala wa BMK, Mariam Muwanga yategeezezza nga bwe batali basanyufu n’abakwasisa amateeka ku ngeri gye bakuttemu ensonga zaabwe, kuba baafuna dda ekiragiro kya kkooti ekirambika obulungi poloti yaabwe weekoma era ne babakkiriza
okukoleramu emirimu gyabwe.
Wabula kyababuuseeko bwe baatuuse ewa RCC w’e Makindye n’agaana, okubawa obukuumi. “Wandibaawo ekkobaane eririwo wakati w’abebyokwerinda
n’omugagga Dan Okware eyagula oluvannyuma lw’okutulemesa okukolera emirimu gyaffe ku poloti yaffe etaali mu nteeseganya na bbanka ya YAKO eyamuguza poloti 46”. Maria uwanga bwe yagambye.
Abaana balumiriza Okware nti bwe yali atwala poloti 46, yasiiga langi ekitundu ekiri ku poloti 44 n’atwaliramu n’ebyuma ebikozesebwa mu kuzimba ekizimbe ekiri ku poloti aabwe. Obuvuyo ku mmaali ya BMK eyali nnannyini wooteeri ya Africana bwatandikira ku mutabani we Haruna Kalule Muwanga okwewola ssente mu bbanka n’abantu ssekinnoomu ng’ayagala okumaliriza pulojekiti
ez’enjawulo ne zimulemerera okusasula. Kino kyavaako bbanka ya YAKO
okutwala poloti 46 gye yali yabasingira n’egiguza omugagga Dan Okware Maschek. Mu kiseera kye kimu ne minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana, Balaam Barugahare naye abanja ssente obuwumbi bubiri z’agamba nti naye yaziwola Haruna Kalule Muwanga
No Comment