Baagala Poliisi ekwate Omusumba w'e Nansana gwe balumiriza okuwabya abalala

Apr 26, 2025

ABASUMBA ba Balokole batadde gavumenti n’ebitongole by’okwerinda ku nninga binnyonnyole lwaki tebinnakwata omusumba Joseph Ssenyonjo vva mu busibe gwe balumirizza okuwabya abantu nga yeerimbise mu bulokole.

NewVision Reporter
@NewVision

ABASUMBA ba Balokole batadde gavumenti n’ebitongole by’okwerinda ku nninga binnyonnyole lwaki tebinnakwata omusumba Joseph Ssenyonjo vva mu busibe gwe balumirizza okuwabya abantu nga yeerimbise mu bulokole.

Abasumba Ba Balokole Abalala Mu Lukung'aana Lwa Bannamawulire.

Abasumba Ba Balokole Abalala Mu Lukung'aana Lwa Bannamawulire.

Bano baategeezezza nti waliwo n'akatambi akasaasaana ku mitimbagano ng'abategeeza nga bw'alina olusirika naye nga abakyala balina kubeera nga tebambadde mpale za munda ssaako abaami okubeera mu vesiti nga tebambadde underwear.!!!

 

Bano nga bakulembeddwa Bishop David Livingstone Kiganda akuliira ekiwayi kya Balokole mu ggwanga nga bakung'aanidde ku kkanisa ya Lean on God Ministries e Nabweru ne bata akaka ku Musumba Ssennyonjo gwe balumirizza okuva ku mulamwa ne bategeeza nti kati ebikolwa bye tebikyali bya kilokole era nga si kitundu ku Basumba ba Balokole.

Baagasseeko nti Ssenyonjo azze avvoola enjigiriza ya Bayibuli era nga n'enjiri gy'abuliira eyolekedde okuviirako abantu okufa nga bwe kyali ku kibwetere nga bwe butyo gavumenti emukwate nga tannaviirako bantu kufa saako ebikolwa by’obumenyi bw'amateeka.

Ssenyonjo Ng'alaga Akatambi Akatuufu Akannyonyola Bye Yali Asomesa.

Ssenyonjo Ng'alaga Akatambi Akatuufu Akannyonyola Bye Yali Asomesa.

Wabula ye Omusumba Ssenyonjo owa vva mu busibe asekeredde bonna abamulwanisa ng'agamba nti bano bamulinako empalana olw’okuba afuba okubuusa abantu nti ddala ekkanisa bizinensi ng'endala era nga ssente eziweebwayo Basumba be bazirya nga beefuula abazitwaala ewa Katonda.

Ssenyonjo era yagasseeko nti n'akatambi Abasumba bano ke basaasaanya ka kitundu kuba yali abuliira bagoberezi be engeri Abasumba ba Balokole gye baferamu abantu kwe kuwa eky’okulabirako kino wabula abamuwala ne balowooza nti by'akola naye nga ekituufu bakimanyi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});