Omuwawaabirwa mu gw'okulebula paasita Kayanja bamutaddeko ekibaluwa ekimukwata!
Apr 27, 2025
KKOOTI ya Nateete Lubaga e Mengo eyisizza ebbaluwa gi ‘w’omulabira omukwate ku omu ku baabawawaabirwa mu gw’okulebula Paasita Kayanja era n’abaamweyimirira nabo ne bassibwako ekiwandiiko ekibayita okubitebya.

NewVision Reporter
@NewVision
KKOOTI ya Nateete Lubaga e Mengo eyisizza ebbaluwa gi ‘w’omulabira omukwate ku omu ku baabawawaabirwa mu gw’okulebula Paasita Kayanja era n’abaamweyimirira nabo ne bassibwako ekiwandiiko ekibayita okubitebya.
Moses Tumwiine amanyiddwa nga ‘Small Pin’ ye yassiddwako ebbaluwa eno ku bigambibwa nti azze yeebulankanya ng’alemesa omusango okugenda mu maaso kati entuula ssatu, bw’atyo omulamuzi Adams Byarugaba n’alagira omuserikale yenna amulabako amukunguzze butereevu mu kkooti abitebye.
Abamu Ku Bawawaabirwa Mu Kaguli.
Kkooti yeesigamye ku bigambo by’abawawaabirwa banne, Alex Wakamala ne Martin Kagolo abaategeezezza nti bazze bamusendesenda okujja mu kkooti kyokka nga by’abaddamu tebiwooma okuli n’okuggyako amasimu gaabwe n’okwebulankanya ng’alaga nga eyabikoowa.
Bino byasabiddwa omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya eyabadde ayagala n’abaamweyimirira bakwatibwe butereevu kkooti ky’etakkirizza, wabula ono era yasabye nti Tumwiine ne bw’anaaba takwatiddwa, abawawaabirwa abaliwo batandike okuleeta okwewozaako kwabwe omusango gusobole okuggwa kuba guluddewo nga beebulankanya.
Kyasoose kuwakanyizibwa balooya baabwe abaakulembeddwamu Humphrey Tumweigye ng’agamba nti newankubadde naye tamanyi gw’awolereza gy’ali, naye ate tekisaanye kugenda mu maaso na musango okuggyako oludda oluwaabi okusooka okumuggya ku mpaaba.
Muwaganya yamwanukudde ng’amugamba nti yandibadde yasuddewo dda n’omulimu kuba ayimirira atya n’ategeeza kkooti nti ate gw’awolereza tamanyi gy’ali n’awa akawaayiro 28, 3d mu ssemateeka akakkiriza okukola ky’ayogeddeko.
Omulamuzi Byarugaba oluvannyuma lw’okuwulira enjuyi zombi, yalagidde Tumwiine akwatibwe okuleetebwa mu kkooti, abaamweyimirira n’abayisaako empapula ezeeyanjula mu kkooti era n’akkaatiriza nti bino byonna ne bwe bigaanyi, omusango gwakutandika okuwulirwa nga May 5, 2025 n’abasaba okukwata obudde n’obujulizi bwabwe.
Abawawaabirwa mwenda Reagan SSentongo, Alex Wakamala, Peter Sserugo, Labeeb Khalifah, Moses Tumwiine, Jamir Mwanda, Israel Wasswa, Aggrey Kanene ne Martin Kagolo be bavunaanibwa ogw’okulumba Ekkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga ne boogera ebikinike ku Musumba Robert Kayanja nti yabatuusaako ebikolwa by’ekikujju ekigambibwa nti si kituufu.
No Comment