Abaana b’omugagga Kirumira bafungizza okutwala emmaali ya BMK

Apr 29, 2025

EBY’EMMAALI ya BMK byongedde okulinnya enkandaggo abaana b’omugagga w’omu Kampala Godfrey Kirumira bwe baggyeyo emitwe nti be baagula ekizimbe ky’e Buziga na bawera nti bagenda kufiirawo okulaba nti ssente zaabwe tezifa ttogge!

NewVision Reporter
@NewVision

EBY’EMMAALI ya BMK byongedde okulinnya enkandaggo abaana b’omugagga w’omu Kampala Godfrey Kirumira bwe baggyeyo emitwe nti be baagula ekizimbe ky’e Buziga na bawera nti bagenda kufiirawo okulaba nti ssente zaabwe tezifa ttogge!

Ssaalongo Gideon Kabuye Kirumira ne mwannyina Brenda Kirumira baagenze ku kizimbe kya BMK e Buziga nga bamazeeko nga muwogo ne bategeeza nti omusajja Dan Meshack Okware eyasooka okugula ekizimbe kya BMK ekiri ku Mulamula Road Block 273 Plot 46 ku Yako Bank yabawa ddiiru ne bagula ekizimbe kyo mu bulambulufu.

Haruna Kalule Kibirige N’aba Famire Nga Beemulugunya. Kozesa Digital Experience

Haruna Kalule Kibirige N’aba Famire Nga Beemulugunya. Kozesa Digital Experience

Baasinzidde mu lukiiko olwayitiddwa RCC wa Kampala, Jane Muhiindo ku Mmande, nga muno mwetabiddwamu ne famire ya BMK abaakulembeddwa muganda w’omugenzi, Haruna Kalule Kibirige. 

Mu lukiiko luno abaana ba Kirumira baakakasizza nti aba famire ya BMK balwana okwezza emmaali eyabalema okusasula nga bagiteeka mu bbanka ya YAKO nga byonna bye bakola babikola na kifuba bagifune naye ng’emmaali yabava dda mu ngalo.

Amayumba e Buziga gabadde gebulunguluddwa abali ku kakiiko akakulira eby’okwerinda mu Makindye okwabadde RCC w’e Makindye, Caroline Nashemeza, Aduumira Poliisi y’e Kabalagala Emmanuel Mafundo ng’olukiiko luno lwakulungudde essaawa mukaaga okulaba nga enjuyi zombi zituuka ku nzikiriziganya.

Gideon Kabuye Kirumira agamba nti bbo tebaasooka na kukitegeera nti emmaali yali ya mugenzi BMK era baagenda kugula mmaali ku mugagga Dan Meshack Okware, emmaali eyabagambibwa nti yateekebwa aba YAKO bbanka ku katale oluvannyuma lwa bannanyini olulemererwa okuginunula.

“Ffe mu kugula emmaali, Okware yatutuukirira ne batutegeeza nti buli kiri ku ttaka ku poloti 46 n’ekkubo eriyingirira munda ne poloti 44 yennyini nayo eri ku poloti eno yeemu, ffe tetulina lutalo lwetutaddewo wabula ate aba BMK bataddewo embeera etulaga nti ate ffe tuli bakyamu naye bwetwali tugula buli kimu kyali mu bulambulukufu era empapula tuzirina,” Gideon bwe yategeezezza.

Yayongedde n’agamba aba BMK byebakola okumenya ekikomera bayingire munda babikola mu bukyamu ate n’ensonga ey’okuteekesa ekiragiro kya kkooti mu nkola tebayinza kukikola nga n’omugagga Okware eyabaguza tayitiddwa kubeerawo mu nsonga zino.

Mu lukiiko olutakkiriziddwamu bannamawulire munda, aba famire ya BMK abaabadde ebweru baagambye nti ensonga zirimu kyekubiira ku ludda lwa kirumira olw’okukkirizako oludda olumu okuteesa ng’ate bbo be bagugulana nabo balekeddwa ebbali.

RCC wa Kampala yategeezezza enjuyi zombi okuleeta abapunta baabwe ku Lwokubiri (Olwaleero) bafune ebipimo ku poloti zombi buli ludda bagonjoole enkaayana zino era buli ludda lweddize emmaali yaalwo nga bamaze kupima.

Olutalo lusinga kuviira ddala ku baana ba Kirumira abagamba nti baagenda okugula poloti 46 buli kimu baakigula nga kwekiri ng’an’aba BMK abagamba bannanyini poloti 44 nayo mweri ne kkubo eribatuusaayo tebalirina, poloti 46 ne 44 zombi ziri Buziga ku Mulamula Road Block 273.

Embeera okutuuka okusitula abantu bonna okugenda e Buziga, aba BMK baamaze kuteekawo mbeera n’okwemulugunya abeebyokwerinda okukandaaliriza okuteeka ekiragiro kya kkooti mu nkola ekyaliko omukono gw’omulamuzi Samuel Kagoda Ntende.

Kino kyafulumizibwa nga March 27, 2025, ekigaana omugagga Dan Maschek Okware ne banne okugobaganya aba ffamire ya BMK ku ttaka lino erya plot 44 n’okubataataganya mu ngeri yonna, n’obutaddamu kubalemesa kuzimba okutuusa nga kkooti esazeewo ekyenkomeredde mu musango gwe baawaaba oguli ku nnamba 0671/2025.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});