Abantu beeyiwa ku ntaana ya Paapa Francis
May 03, 2025
OLWAWULIDDE nti Eklezia ekkirizza abantu okutuuka ku ntaana ya Paapa Francis, ne abatandika okweyiwayo mu ngeri eyasusse ku b’ebyokwerinda kye baabadde basuubira.Bano bongerezza ku muwendo gw’abantu bulijjo ababadde beeyiwa e Roma ne bagenda mu Klezia ggaggadde eya, St. Peter’s Basilica mu Vatican. Abagiyingira abamu baba tebagenze kusoma Mmisa wabula okulambula ebyafaayo byayo ebitakoma.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
OLWAWULIDDE nti Eklezia ekkirizza abantu okutuuka ku ntaana ya Paapa Francis, ne abatandika okweyiwayo mu ngeri eyasusse ku b’ebyokwerinda kye baabadde basuubira.
Bano bongerezza ku muwendo gw’abantu bulijjo ababadde beeyiwa e Roma ne bagenda mu Klezia ggaggadde eya, St. Peter’s Basilica mu Vatican. Abagiyingira abamu baba tebagenze kusoma Mmisa wabula okulambula ebyafaayo byayo ebitakoma.
Ekimu ku bisinga okusikiriza abalambuzi n’abasabi, ze ntaana omwateekebwa Bapaapa era ezimu ziwuniikiriza.
Muno mulimu entaana z’abamu ku Bapaapa 91 ku bonna 266 abaakabubeerako.
Entaana eyasooka ye ya Petero Omutume, Paapa omubereberye eyatandika enjiri mu Roma n’attibwa wakati w’omwaka gwa 60 ne 70 okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia, amagumba ge gaazuulibwa ne gaziikibwamu.
Okuva olwo, Bapaapa abasigadde bazze baziikibwa omwo okuggyako abalaamye ne babaziika ebweru waayo nga Paapa Francis bwe yakoze n’aziikibwa mu Roma.
Bapaapa bangi bali mu Klezia awo era bw’oba oyingira, ku bo kw’osoosa amaaso. Mu abo mwe muli n’Omutuukirivu Paapa John Paul II. Yakazibwa era olw’okuba y’omu ku Bapaapa abaasinga okulwako, yamanyika nnyo ate nga wa kyasa kino ekireetera abantu abangi okujjula ku ntaana ye nga basaba.
Nga bwe kiri ku bamu ku Bapaapa abalala, omubiri gwa Paapa John Paul II, gwakazibwa ne guteekebwa mu kkeesi ye era ffeesi ye obeera ogiraba mu giraasi ennene. Abantu beekubisizaako ebifaananyi n’ebya ‘selfie’ abakwata obusimu ne babwetunuzaamu bonna omwo.
Entaana ye, eya Petero n’eya Paapa Francis ze zikyasinze abalambuzi abangi essaawa eno.
Eya Paapa Francis eyaziikiddwa mu Klezia ya Basilica ya Santa Maria Maggiore, amawulire ga Vatican News gaalaze omujjuzo gw’abantu abagiyingira okugirabako, okumusabira nga nabo bwe beesabira.
Amawulire ga CNN gaalaze abantu abaasobye mu 200,000 abaabadde mu mmisa ku Ssande ewedde, abasinga bwe baavudde mu mmisa eyo eyabadde mu kibangirizi kya St. Peter’s Square mu maaso ga St. Peter’s Basilica, baamalidde ku ntaana ya Paapa Francis era kaabadde kasattiro ng’abeebyokwerinda babalaga bwe balina okutambula.
Entaana ya Paapa Francis lwe yasoose okukkirizibwa abantu okugirabako okuva lwe yaziikibwa ku Lwomukaaga oluwedde.
Ekimu ku bireetera Bapaapa okuziikibwa mu keesi essatu okuli eraga obutukuvu, obwerufu n’esembayo etereka omulambo gwe nga guli wamu, kiva ku kuba nti, ayinza okulangirirwa ku butuukirivu n’aggyibwayo n’aziikibwa awalala oba okubaako ebimuyigirwako.
Kiri nga Paapa John Paul II bwe yasooka okulaama aziikibwe e Poland gye bamuzaala, ekiraamo kye kyasazibwamu n’aziikibwa mu kye bayita Vatican Grotttoes. Bwe yafuuka omutuukirivu nga kimaze okukakasibwa nti alina ebyamagero by’akoledde abakkiriza, yaggyibwayo n’ateekebwa ku mwanjo mu Klezia ya St. Peter’s Basilica.
Byonna bitegeeza nti, ne Paapa Francis ‘asobola’ olumu okuggyibwa gye yalaama okuziikibwa, singa waliba wabaddewo eky’amaanyi ekiriwo n’addamu okuziikibwa mu St. Peter’s Basilica, ekifo ekitongole ekirina okuziikibwamu Bapaapa.
EZIMU KU NTAANA ZA BAPAAPA
EZIRI MU ST. PETER’S BASILICA
l St. John XXIII, oyo yakazibwako lya “Good Pope” olw’obutukuvu bwe kwe yagatta okutandikawo Second Vatican Council, eyakkiriza Abakatoliki mu nsi yonna okusoma mmisa mu nnimi zaabwe, ensinza ya Charismatic, okukkiriza bafaaza okusikira bazadde baabwe n’ebirala ebyali tebikkirizibwa mu Klezia. Y’emu ku nsonga ennyingi ezaamutuusa ku Butuukirivu.
lPaapa Pius XII, eyakulembera Klezia n’agiyisa mu Ssematalo owookubiri.
l Paapa Paul VI, eyamaliriza olukiiko lwa Second Vatican Council ate nga yakolera Klezia ebintu bingi. Ono ye yalangirira abajulizi ba Uganda mu butuukirivu mu 1964 era kw’olwo embuutu zaakubwa n’amazina ga wano gaazinibwa mu Basilica ya Petero Omutuuukirivu e Roma. Ono era ye Paapa eyasooka okujja mu Uganda mu 1969. Mu myaka egyo, Bapaapa baali tebatera kufuluma Vatican era kyakola amawulire mangi okuba nga yajja. Ekyo kyakolebwa olw’abajulizi abangi abaafiirira eddiini Uganda b’erina era tewali Paapa ayinza kujja mu Uganda n’atagendako Namugongo gye baabattira.
lBenedict XVI yaziikibwa mu kifo ekitongole omulina okuziikibwa Bapaapa ekiyitibwa crypt. Ekifo ekyo kiri wansi mu kye wandiyise ‘Go down’ mu Klezia ya St. Peter’s Basilica. Ono ye Paapa eyaziikibwa ng’emikolo mingi tegikoleddwa omwali n’obutakuba bide kubikira Roma n’ensi yonna kubanga okufa, yali yalekulira Obwapaapa.
lPaapa Benedict XV eyaliko wakati wa 1854 ne 1922. Yakola nnyo mu Ssematalo eyasooka okukuuma Klezia.
Bapaapa abalala bangi abaaziikibwamu.
No Comment