Lumonde aleeta amaanyi agakumazaako mu kisaawe

May 04, 2025

LUMONDE y’emu ku mmere abantu gye bettanira ate nga ya mugaso eri abasajja okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka.

NewVision Reporter
@NewVision

LUMONDE y’emu ku mmere abantu gye bettanira ate nga ya mugaso eri abasajja okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka.
Omukugu mu kukola eddagala ery’ekinnansi, Dr. Francis Omujala okuva mu Natural Chemotherapeutics Research Institute (NCRI) e Wandegeya, agamba nti, lumonde
alina ebirungo okugeza Vitamiini C, potassium, magnesium, antioxidants n’ebirala.
l Lumonde alina ekirungo kya Vitamiini C ekikuuma enkwaso nga nnamu bulungi.
l Ayamba okukendeeza situleesi mu mubiri ekikuuma enkwaso nga nnamu.
l Ayamba okutambuza omusaayi okugutuusa ku buli kitundu ky’omubiri olw’ekirungo kya Potassium ekirimu ekiyamba ennyo abaami.
l Lumonde ayamba okwongeza omuwendo gwa ‘testosterone’ ekiyamba okulinnyisa obwagazi.
l Lumonde ayamba okuwa amaanyi omubiri gw’omusajja olw’ekirungo kya ‘carbohydrates’.
l Lumonde alina ebiwuziwuzi  ebiyamba mu kukyusa emmere mu lubuto omubiri ne gufuna ebiriisa ebyetaagisa omusajja n’atuukiriza bulungi emirimu gye.
Bya MOLLY NAKKAZI
Katippa...
EMIGASO EMIRALA
l Ayamba mukujanjaba endwadde z’olususu olwekirungi kya Vitamini
A ekirimu. l Alina ekirungo kya mangesemu ekiyamba okuwa omubiri amanyi awamu n’okugumya amagumba..
  Lumonde alina ekirungo Kya Potassium ne Magnesium ekiyamba okukendeza ku puleesa y’omusaayi  ekikuma omutima nga guli mu mbeera ennungi
l Abalwadde bamaaso bakubiribwa okulya lumonde olwekirungo
kya vitamin C
l Alina ebiwuziwuzi ebiyamba mukwanguya okukuba emmere mu lubuto ekintu ekikuma emibiri gyaffe nga mirungi
l Ayamba ku balwadde bamaaso, bano bakubirizibwa okulya lumonde okusobola okulaba obulungi.
l Omukugu akubiribiza abantu okulya lumonde okukuuma obwongo nga bujukira bulungi nnyo

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});