Enkozesa y’obukuta mu nnyumba y’enkoko

May 04, 2025

ABALUNZI abasinga okulunda enkoko bakozesa bukuta mu nnyumba naye abamu bassaamu bussa bukuta kutuusa mukolo nga tebasoose kumanya lwaki balina okussaamu obukuta olwo basobole okulunda mu butuufu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABALUNZI abasinga okulunda enkoko bakozesa bukuta mu nnyumba naye abamu bassaamu bussa bukuta kutuusa mukolo nga tebasoose kumanya lwaki balina okussaamu obukuta olwo basobole okulunda mu butuufu.
Ssaalongo Robert Sserwanga, omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo n’abavubuka annyonnyola nti kikulu okumanya omugaso gw’obukuta mu nnyumba y’enkoko olwo osobole okukola okusalawo okutuufu ku kika ki ky’ogenda okukozesa.
Mu nnyumba nga yakussaamu bukuta wansi, obusinga obulungi, bisusunku bya muceere n’obukuta bw’emmwaanyi olwo singa ebibiri bino bibula kozesa ebisusunku ly’embaawo. Enkoko y’amagi egendamu obukuta yinsi nnya.
Kyokka mu nkoko z’ennyama tukozesa yinsi bbiri zokka kuba enkoko y’ennyama buli lw’etuula wansi yeetaaga okukkakkanya ebbugumu ly’omubiri okugenda mu bukuta nga n’olwekyo yeetaaga okukoonako ku ttaka katono.
BY’OLINA OKWENEENYA KU BUKUTA
l Obukuta bulina okuba nga busobola okukwata oba okuggya amazzi okuva mu kalimbwe. Enkoko zissa era mu nnyumba mubeeramu amazzi mangi kuba enkoko y’ennyama weetuukira mu wiiki mukaaga, ebeera enywedde liita 5-6 kyokka nga mu mubiri gwayo gulimi liita emu nga kitegeeza nti amazzi agasigadde egafulumiza mu kalimbwe n’okussa. Jjukira nti ekiyumba ekibisi, kitegeeza bulwadde.
Bw’ossa obukuta mu nnyumba, bukwanguyiza mu kulongoosa ennyumba olwo ne weetangira obulwadde obwandikutawaanyizza olw’obucaafu.
l Obungi bw’obukuta: Abalunzi mu mawanga agaakula, bakozesa yinsi z’obukuta mukaaga nga singa agenda kulunda nkoko za nnyama, oluvannyuma lwa wiiki nnya abukyusa obwawansi ne budda waggulu olwo n’alundirako enkoko endala.
Mu nkoko z’amagi wandibadde osobola okulunda okumala omwaka ogumu n’ekitundu nga tonnakyusa wabula olw’okuba abalunzi abasinga bassaamu butono buggwaamu mangu omugaso.
l Ebika by’obukuta: Ebisusunku by’emiti bikola bulungi mu nkoko z’ennyama. Embumpu y’emiti nayo ekola bulungi naddala mu nkoko kuba ekuuma bulungi ebbugumu. Wabula olw’okuba waliwo emiti egivaamu omukka gw’obutwa ate nga bw’ogenda mu bbajjiro tebagenda kukubuulira bika bya miti gisaliddwa, oyinza kufiirizibwa.
OBUKUTA OBUSINGA
Obukuta obusinga obulungi bwandibadde bwa muceere kuba bukola ebbanga ggwanvuko okusinga obulala ate enkoko ne bw’ekalya ng’ebojjerera, esobola okukakuba n’ekafulumya nga kalimbwe.
BYE WEEGEDEREZA KU BUKUTA BWEMMWAANYI
Obukuta obusinga okukozesebwa bwa mmwaanyi era bangi bwe bakozesa okumala ebbanga naye butera okuggyiramu olufuufu. Akakuta kano tekavunda mangu olwo ne kakwata bulungi kalimbwe wabula nga bw’olaba katavunda mangu era ne mu lubuto singa enkoko ebeera ekalidde bwe kalwawo okukubwa ne kacankalanya enkozesa y’emmere. Ennyumba togikkiriza kuvunda era singa wabeerawo awatobye, obukuta bwawo buyoolewo osseewo obupya osobole okutangira obulwadde.
Ku Mmande, tugenda kunnyonnyola obukulu bw’ebibiikiro, ebyesuubo n’ebirala mu nnyumba y’enkoko naddala ez’amagi okusobola okufuna emirembe, ekuwe amagi amalungi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});