Eyabadde avvoola Obuganda atemeza mabega wa mitayimbwa
May 04, 2025
OMUVUBUKA eyeeyita omunyarwanda asindikiddwa e Luzira lwa kuvvoola Kabaka wamu n'oBuganda.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUVUBUKA eyeeyita omunyarwanda asindikiddwa e Luzira lwa kuvvoola Kabaka wamu n'oBuganda.
Geoffrey Mugisha 25 olumu nga yeeyita Kempala omutuuze we Munyonyo mu disitulikiti ye Wakiso yasindikiddwa mu kkomera olw'okuvvoola Abaganda wamu ne Kabaka nga akozesa omukutu gwa Tiktok ekikolwa ekisiga obukyayi mu bantu.
Kigambibwa nti mu mwenzi gwa April 2025 Mugisha nga ayita ku mukutu ggwe ogwa Tiktok oguli mu mannya ga @Kampak2 nga asinziira mu bitundu bye Bulenga, yavvoola abaganda nga abayita abaalemwa wamu n'okuvoola Kabaka wa Buganda.
Teyakoma okwogera yagattako n'okutiisatiisa nga bwebagenda okyusa Abaganda bafuuke abanyarwanda kumpaka wamu n'obutaddamu kweyita kyebatali.
Mugisha y'egaanye omusango guno wabula n'ategeeza nti yalina obusungu ku muntu eyali akomentiinze ku katambu akamu keyateekayo nga agamba nti abanyalwanda bagenda kuddayo e Rwanda
Ye kwekumuddamu mubusuungu wabula ono yetoondedde obwabakabaka bwa Buganda wamu ne Kabaka nga kwotadde n'omukulembeze we ggwanga okumufuula Kabaka wa Banyalwanda era nga yategeeza nti ye Kabaka omutuufu.
Abasirikale baasobola okulondoola Mugisha nakwatibwa era yasoyezebwa ebibuuzo oluvannyuma yakkiriza nti kituufu yabyogera wabula nga yazikola mu busungu.
Omuwabi wa gavumenti mu musango guno Ivan Kyazze yategezezza kkooti nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso era nti beetaaga okutwala essimu eyakwata a katambu Kano okugenda okwekebejjebwa obulungi.
Mugisha yasabye kkooti okweyimirirwa wabula abazze okumweyimirira baabadde tebalina mpapula ziboogerako wano omulamuzi Kayizzi wasiinzidde namusibdika ku meere e Luzira okutuusa nga May 19,2025.
Related Articles
No Comment