Famire ya Bmk yeddizza ekizimbe ky’e Buziga

May 05, 2025

FAMIRE ya BMK yeddizza ekizimbe ekiri ku poloti 44 wakati mu lutalo olw’amaanyi omwabadde bakifeesi okusalako ebizimbe byonna munda.

NewVision Reporter
@NewVision

FAMIRE ya BMK yeddizza ekizimbe ekiri ku poloti 44 wakati mu lutalo olw’amaanyi omwabadde bakifeesi okusalako ebizimbe byonna munda.
Baatandike okukanyugira aba famire ya BMK amayinja nga tebabaganya kusemberera bizimbe we biri. Bano nga bakulembeddwaamu muganda w’omugenzi  Haruna Kalule Kibirige n’omusika Ali Kibirige baagenze ku ttaka e Buziga okwezza emmaali yaabwe
eri ku poloti 44, block 273, Mulamula Road oluvannyuma lw’abapunta okupima ne balaba buli poloti w’ekoma.
Wabula bino tebyabadde byangu nga bwe baabadde babisuubira oluvannyuma lw’okutuuka ku ttaka lino ate abagambibwa  okubeera bakifeesi abaabadde beetoolodde ebizimbe ne batandika okubakasukira amayinja  kw’ossa okubawereekereza ebigambo
nga bwe babagobaganya.
Bano obwedda tebataliza muntu yenna wadde okuwuliriza ekigambo kyonna nga ne RCC wa Kampala, Jane Muhindo bwe yatuuse ku ttaka lino tebaamuganyizza
kulinnyako wadde ekigere olw’amayinja agaabaddegayiting’anira mu bbanga okuva
 mu buli kasonda.
Amayinja baagakanyugidde essaawa nga mukaaga okuva ku ssaawa 2:00 ez’oku makya okutuusa ku ssaawa 8:00 ez’emisana.
Obwedda buli gwe balaba ayagala okwogera ku nsonga z’ettaka, oyo nga bamukanyugira bamugobewo.
Kino kyatabudde RCC n’aduumira poliisi y’e Kabalagala  Emmanuel Mafundo ne bongera okuyiwa abaserikale abakkakkkanyiza embeera olwo ekiragiro  kya kkooti ne kisomebwa.
Mu lukiiko olwasooka omwali okwerula empenda za poloti zombi, bateese nga famire, eya Kirumira yakiikirirwa Brenda Kirumira ate eya BMK omusika Ali Kibirige, Sula Muwanga Jjingo n’abaana abalala.
Sula Muwanga Jjingo yategeezezzanti, olukiiko luno terwavaamu kiramu, bo kwe
kusalawo okussa ekiragiro kya kkooti mu nkola nga bwe baategeezebwa bwe biba nga
eby’okwogerezeganya emirembe  bigaanyi.
Wakati mu bukuumi obw’amaanyi ekiragiro kya kkooti ekiriko omukono gw’omulamuzi
Samuel Kagoda Ntende, kyasomeddwa RCC era n’ategeeza nti aba ffamire ya BMK ba ddembe okukolera emirimu gyabwe ku poloti 44 nga tewali abataataaganya. Era yagambye ba ddembe okuzimba n’okukola ebyabwe awatali  kusukka ebipimo ebyakolebwa ku poloti 44 ne 46 we zikoma okutuusa nga kkooti esazeewo ekyenkomeredde mu musango gwe bawaaba oguli ku nnamba 0671/2025

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});