Vision Group ekoowodde kkwaaya ezaagala okwetaba mu mpaka z’ennyimba ku Bajulizi

May 06, 2025

KKAMPUNI ya Vision Group, ekoowodde kkwaaya z’Abakatoliki n’Abakristaayo zonna ezirina ekirooto ky’okwetaba, okuvuganya n’okuwangula empaka z’ennyimba z’Abajulizi okwewandiisa mu bwangu.

NewVision Reporter
@NewVision

KKAMPUNI ya Vision Group, ekoowodde kkwaaya z’Abakatoliki n’Abakristaayo zonna ezirina ekirooto ky’okwetaba, okuvuganya n’okuwangula empaka z’ennyimba z’Abajulizi okwewandiisa mu bwangu.
Omukuhhaanya ow’oku ntikko owa Vision Group, Barbara Kaija yagambye nti empaka zino ezaatandika omwaka oguwedde zikomyewo n’ebinnonoggo nga kkwaaya yonna eya Church of Uganda n’eya Klezia Katolika zikkirizibwa okwewandiisa.
Yagambye nti ekiruubirirwa ekikulu mu mpaka zino kwe kujaguliza awamu ng’eggwanga obukulu bw’Abajulizi ba Uganda n’okwongera okuteekawo ebiyiiye ebibakwatako ensi yonna eyongere okubamanya. Vision Group yafunye dda abakugu mu kulamula eby’ennyimba, abanaasunsula kkwaaya zino okuva ku mutendera ogusooka okutuusa ku mpaka ez’akamalirizo ezinaabaayo nga May 31, 2025.OKWEWANDIISA MU MPAKA ZINO
Kaija yagambye nti buli kkwaaya eyeewandiisa erina okwekwata akatambi ka vidiyo ak’oku ssimu akatasussa ddakiika ssatu ng’eyimba. Oluvannyuma kkwaaya akatambi ekasindike ku WhatsApp nnamba: 0776877528 nga kuliko erinnya lya Kkwaaya, Ekkanisa oba Klezia mw’eyimbira n’ekitundu gy’esangibwa ssaako ‘reference number ‘eya Mobile Money kwe basasulidde ez’okwewandiisa.
Abasasulira ku Airtel munyige *185*9#1175850, oteekewo omuwendo gwa ssente (100,000/-), n’erinnya lya kkwaaya nga reference. Ate aba MTN, onyiga *185*4#, n’ogenda ku payment, goods and services, merchant code NV3, omuwendo gwa ssente ne mu customer reference n’ossaamu erinnya lya kkwaaya. Okwewandiisa kukoma nga May 14, 2025.EBIRABO ERI ABAWANGUZI
Akulira okuteekateeka empaka zino Max Adii agamba nti buli ludda (Olw’Abakatoliki n’Olwa Church of Uganda) waakulondebwayo kkwaaya ssatu ssatu ezinaaba zisinze. Kkwaaya ebbiri ezinaakulembera enjuyi zombi zaakuweebwa ekikopo n’obukadde 10 buli emu, ezinaakwata ekyokubiri ziweebwe obukadde butaano buli emu n’ezinaakwata ekyokusatu ziweebwe obukadde busatu buli emu

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});