Mathias Mpuuga atwala Bobi Wine mu kkooti
May 07, 2025
KAMISONA wa palamenti era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga ayambaliridde omukulembezze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi n’omubaka wa Makindye west Allan Ssewanyana olw’okumwogerako ebigambo ebitaliko mutwe n'amagulu.
By Edith Namayanja
Journalist @New Vision
KAMISONA wa palamenti era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga ayambaliridde omukulembezze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi n’omubaka wa Makindye west Allan Ssewanyana olw’okumwogerako ebigambo ebitaliko mutwe n'amagulu.
Olunaku lw’eggulo omubaka wa Makindye west Allan Ssewanyana nga asinzira ku kitebe kya NUP yalumiriza nga omubaka Mathias Mpuuga bwali emabega ew’okukwatibwa kwabwe musango ogumuvunanibwa mu kkooti ku bijjambiya ebyali mu bitundu by’e Masaka.
Mpuuga nga asinziira mu lukung'aana lwa bannamawulire yewunyiza ebigambo bino n'agamba asaasira abantu abafirwa abantu baabwe nga famire ya ssengirinya olw’okubonabona ekiseera kino nga banoonya obwekanya naye nga waliwo abamanyi abali emabega w’emisango gino.
Mpuuga asaasidde Ssewanyana olw’ebigambo byeyayogedde n'agamba ono anoonya mmere ya kulya nga alina kunoonya wasinziira okuweebwa kaadi ya NUP yenazeeko ennaku.
Mpuuga takomye awo ayamabaliridde pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi olw’okubalaatira mu nsonga zino n'agamba kati afuuse kizibu nga asuulawo ensonga ez’omugaso nga okuwambibwa kwa Eddie Mutwe adde mu kwambalirira Mpuuga.
Agambye ono alabika ebimusuumbuwa bingi nga yandiba alina byakozesa byebalwana omuggyako nga oba si kyo yandiba nga yetaaga okukeberebwa omutwe kubanga tali yekka.
Mpuuga era agamba nti akooye Kyagulanyi okumwogerako kalebule nga amaze okulagira bannamateeka be ono okumutwala mu kkooti.
Mpuuga era agamba ky’ekiseera ab’oludda oluvuganya gavumenti okumanya nti omuntu gwebawa obuvunanyizibwa okubakulembera talina kyagenda kubongerako.
Agamba nti mu kalulu ka 2026 siwakuvuganyiza ku kaadi ya Nup wabula nagamba abo bonna abagala okubatabaganya takirinako buzibu kasita okutabagaana kubeera nga kugenda kwesigamizibwa ku mazima.
No Comment